TOP

Omwana wange anaasobola okuzaala?

By Musasi wa Bukedde

Added 10th October 2019

OMWANA wange simanyi oba anaasobola okuzaala.

Ssengalogo 703x422

OMWANA wange simanyi oba anaasobola okuzaala. Baamulongoosa n’asigaza entula emu naye ndi mweraliikirivu. Naasobola okulaba ku bazzukulu be?
 
OMWANA ono agenda kusobola okuzaala kuba bangi abalina entula emu naye nga bazaala. Abamu balowooza nti alina entula emu azaala bawala bokka oba balenzi bokka. Kino si kituufu.
 
Omwami bwabeera n’entula emu ebeeramu amagi ag’ekiwala n’ag’ekirenzi ate ezaala bulungi.
 
Waliyo n’abakyala nga balina ekisu kimu ekivaamu amagi g’ekikyala, abo nabo bazaala bulungi. Jjukira nti okuzaala omulenzi oba omuwala okusinga kiva ku magi g’omusajja
nga gasinga kuleeta ga kirenzi.
 
Ate ne wabeerawo abazaala abaana abawala era abo balina ga kiwala okusinga. Waliyo embeera nga ssinga omukyala agibeeramu asikiriza amagi g’ekirenzi, eyo ebeera ng’omukyala oba omuwala asudde eggi ebiseera ebisinga azaala mwana mulenzi.
 
Nkakasa nti omwana oyo bwanaatandika okuvubuka, mutwale alabe omusawo
omukugu kati nga e Naguru Teenage Centre bakebere oba entula eno emu
esse bulungi mu kisawo era awo aba ajja kusobola okuzaala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Buv1 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ebintu ku...

Omuliro gusaanyizzaawo ebintu ku kizinga e Buvuma

Capture 220x290

Ab'abaana abasatu basiibuddwa mu...

Ab'abaana abasatu basiibuddwa mu ddwaliro: Balaajanidde abazirakisa okubadduukirira

Lip3 220x290

Ogw'okutta Mozey Radio gw'akusalibwa...

Ogw'okutta Mozey Radio gw'akusalibwa nga 28 omwezi guno

Kip2 220x290

Poliisi ekutte omukyala abadde...

Poliisi ekutte omukyala abadde atunda omwana we afune entambula emuzza ewaabwe!

Riot24 220x290

Okwekalakaasa e Makerere, akulira...

Ttiyagaasi anyoose e Makerere, akulira abayizi akwatiddwa, abayizi bazirise.