TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Baze yatunda eby'omu nju n'ansindika mu kyalo.

Baze yatunda eby'omu nju n'ansindika mu kyalo.

By Musasi wa Bukedde

Added 10th October 2019

Baze twatandika bulungi nga twagalana naye waliwo abaamugamba ebigambo ne tukyawagana. Ono lumu yantuma mu katale okugula emmere nagenda okudda ng'ebintu by'omu nju byonna abitunze bwe namubuuza gye yali atadde ebintu n'agamba nti abadde ayagala ssente zeintwala mu kyalo era n'ankwasa 110,000/- nti ngende mu kyalo era okuva olwo siddangamu kumulaba ne bwe mmukubira essimu tagikwata.

Savior4 703x422

Gumushabe ng'alojja ennaku gy'ayitamu

OMUSAJJA gwe nnazaalamu omwana andabizza ennaku ne ntuuka n’okwevuma buli musajja gwe ndaba.

    Nze Savior Gumushabe, mbeera Lugoba. Omusajja ono gwe njogerako yansanga ku mulimu gye nnali nkolera n’atandika okuntokota. 

Ono yasooka kubeera kasitoma wange ku dduuka we nnali nkolera era wano we twatandikira. Olw’okuba yali alabika bulungi era ng’alabika okubeera owoobuvunaanyizibwa, namukkiriza.

    Twatandika okweraga omukwano nga kye njoya ky’aleeta era ekyavaamu kwali kunsaba kumufumbirwa. Nakkiririzaawo kyokka olw’okuba buli kimu yali akimpa, yagaana okuddamu okukola era ne ntuula awaka nga nange sikirabamu buzibu. 

Nga wayise emyezi nga etaano, nafuna olubuto era ne tusanyuka naye kye saamanya nti, landiroodi waffe n’abamu ku baliraanwa baffe omukwano gwaffe gwali gubanyiiza.

Waliwo abamu abaalumba baze ne bamugamba nti nnina omusajja omulala era nti buli lw’ava awaka nga nange ng’enda ew’omusajja oyo. Baamugamba bingi naye baze teyabihhamba.

Olubuto bwe lwaweza emyezi ena, baze nnamusaba hhendeko ewaffe nfune ku ddagala n’ang'aana era wano we yatandikira okukyuka nga buli kimu kimuyombya. 

Lwakya lumu n’ampa 5,000/- n’andagira hhende ngule emmere mu katale era ne hhenda naye ng’akatale kali wala ne we twali tubeera.

Wabula nagenda okudda awaka, namusanga atudde ku lubalaza naye ng’ennyumba nkalu. Bwe namubuuza ebintu gy’abitadde n’agamba nti yali abitunze afune ssente ezintwala ewaffe mu kyalo kubanga yankoowa dda.

 Nasooka ne ndowooza nti osanga yali asaaga naye nagenda okulaba ng’ankwasa 110,000/- nti nzeyambise okugula engoye zange mmuviire. Nnayingira mu nju ne nnondamu engoye zange ezaali zimansiddwa wansi ne nzira ewaffe. 

Buli lwe nagezangako okukuba ku ssimu ye nga tagikwata ate nga n’olumu tebaako ne nsalawo okugyesonyiwa okumala akaseera.

Bwe nnamala okuzaala, naddamu ne mmukubira essimu n’agikwata n’ahhamba nga bw’atali mu Uganda nti yagenda bweru. 

Mbadde mu mbeera embi n’omwana wange nga kati mulwadde yafuna ebizimba naye bwe mugamba agamba nti nnoonye taata w’omwana ye si wuwe era nnerabire omukwano gwe yalina gyendi. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Enanga1 220x290

Taata wa Enanga atuuyanye ku by’ettaka...

TAATA w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga abadde mu kaseera kazibu ng’annyonnyola engeri ye ne mutabani...

Lukwago 220x290

‘Sasula obukadde 50 oba ogende...

Sandra Katebaralwe, mukyala wa Paasita David Ngabo eyacaaka ennyo olw’okusabira FDC ng’alumba gavumenti ye yadduka...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde

Taxi5 220x290

Poliisi emukutte awambye abaana...

POLIISI y’e Bujuuko etaayizza omusajja agambibwa okuwamba abaana b’essomero n’emussa ku mpingu. Yeewozezzaako nti...

M71 220x290

Museveni awadde Sabiiti ekiragiro...

PULEZIDENTI Museveni awadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, ennaku bbiri aveeyo...