TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Baleese etteeka ku kunyumya akaboozi

Baleese etteeka ku kunyumya akaboozi

By Musasi wa Bukedde

Added 15th October 2019

GGWE ssebo abadde alowooleza mu bya, ‘omusajja tammwa kantu’, bukukeeredde! Palamenti ereese etteeka mw’osobola okuvunaanibwa omusango gw’okusobya ku mukyala wo n’osibwa amayisa olw’okumukaka okunyumya akaboozi ng’abadde tayagala.

Tteeka2 703x422

Omuvubuka ng’agezaako okwambula omukazi. Baababdde ku bbiici e Nabugabo.

GGWE ssebo abadde alowooleza mu bya, ‘omusajja tammwa kantu’, bukukeeredde! Palamenti ereese etteeka mw’osobola okuvunaanibwa omusango gw’okusobya ku mukyala wo n’osibwa amayisa olw’okumukaka okunyumya akaboozi ng’abadde tayagala.

Ate ne bw’aba akkirizza tekikweyinuza, kuba waddembe okwekyusa n’agaana ekiseera kyonna nga temunnaba kutandika mikolo ne bwe mubeera muli mu kikolwa kyennyini.

Kwe kugamba nti ssinga munno akugamba nti seewulira bulungi tukome awo, ne weefuula nnampulira zzibi n’oyagala okusooka okumalamu akagoba obeera oyolekedde okuggulwako omusango gw’okusobya ku mukazi.

Ekibonerezo ekisembayo ku muntu asobezza ku mukazi kya kusibwa mayisa ssinga gukukka mu vvi!

 

Kyokka ssinga kizuulwa ng’eyasobezza alina obulwadde bwa mukenenya, yasobezeddwaako nga mukadde oba ng’aliko obulemu, nga baamusobezzaako kirindi, ekibonerezo kibeera kya kuwanikibwa ku kalabba.

Bino bye bimu ku biri mu bbago ly’etteeka erikwata ku by’okwegatta erya ‘Sexual offences Bill, 2019’ eryaleeteddwa omubaka Munisipaali) eriri mu wekenneenyezebwa akakiiko ka Palamenti akakola ku by’amateeka.

Etteeka lino liwagirwa nnyo ekibiina ekigatta ababaka ba palamenti abakazi abeegattira mu kibiina kya Uganda Women Parliamentary Association ekya UWOPA.

EYALEESE ETTEEKA AWAGIDDE OMUKAZI OKUGAANA

Amoding yagambye nti etteeka lizze kulwanirira abantu abafuna ebizibu ebiva mu kwegatta, ababadde bafa ekimugunyu nga tebalina waakwekubira nduulu.

“Omukazi alina eddembe okukkiriza nti ‘Ye’, alina okubeera ng’alina eddembe erisobola okugamba omusajja nti koma awo, emikolo ne bwe gibeera gitandise. Omusajja bw’alemerako n’amukaka abeera alina okuvunaanibwa,” bwe yagambye.

 

Yawadde ekyokulabirako ky’omukazi ayinza okukkiriza omusajja ne bagenda mu loogi okwesanyusa, kyokka bwe batuukayo omusajja n’agaana okukozesa akapiira. Kibadde kizibu okukakasa abantu nti baakukwatidde mu loogi olw’okuba nga weetutte.

Waliwo abasajja abalina enkola y’okukozesa sitayiro ezitategeerekeka ng’okukola omukazi ebintu ebitakkirizika, tekirina buzibu omukazi okumugamba n’akoma awo.

Isaac Mulindwa Ssozi (Lugazi munisipaali) yagambye nti, omukazi ayinza okukkiriza omusajja Abasajja abamu beekamirira wadde abeera yasoose kukkiriza beegatte.

Waliwo n’embeera omukazi yennyini ne yeekengera ekintu ekiyinza okumutiisa okugeza olususu nga lwayiwa.

 

Rehema Wetongola (Kamuli Munisipaali) yagambye nti, omukazi asobola okukkiriza kyokka agenda okwesanga ng’omusajja munene nnyo nga tajja kumusobola.

Siraba nsonga lwaki omukazi alina okugumira embeera y’ekika kino okutuuka ku nkomerero, kyokka nga muli ayita mu bulumi obutagambika olw’okuba omusajja

ayagala essanyu.

Lydia Mutonyi Masaaba (Bubulo West). Omukazi asobola okwesanga mu mbeera nga babadde bagenda mu kikolwa n’agenda mu nsonga z’ekikyala. Abeera alina okugamba omusajja ne bakoma awo kuba abeera ayolekedde obuzibu kuba mu by’obulamu si kirungi.

BAWAKANYA EKY’OKUGAANA OKWEGATTA

Anna Adeke Ebaju (bavubuka/ Buvanjuba). Ndaba nga kigenda kubeera kizibu okukikakasa mu mbuga z’amateeka nti ddala omukazi yakwatiddwa.

Abakazi bulijjo bagaana naye nga tebakitegeeza kuba y’enkula y’abaddugavu omukazi obutalaga nnyo nti ayagala.

Kati omusajja agenda kwawula atya ‘nedda’ y’agaanidde ddala okuva ku ya bulijjo abakazi bwe beegaanya naye nga tebakitegeeza? Kino kyandyongera obutabanguko mu maka.

Spellanza Muhenda Baguma (mukazi/Kyenjojo ); Bino ndaba ng’okunyumyaamu nti osobola okuyimiriza omusajja ng’emikolo teginnaggwa. Mu buntu kino kizibu nnyo omusajja okutandika emikolo n’omuyimiriza mu makkati.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabuzi1 220x290

Uganda ekubye Malawi 2-0 n'ewaga...

MU Mupiira, waliwo enjogera egamba nti tewali buwanguzi bubi, wabula waliwo bw’otuuka ekiseera ng’olina okutunuulira...

Gendako 220x290

Engeri okwanjula kwa Hamza gye...

Ebika bibiri eky’Endiga n’Ekyolugave Rema mw’azaalwa byali tebimanyiganye era nga tebasisinkanangako.

Bwama 220x290

Rema annyonnyodde by'ayiseemu ng'anoonya...

Rema yabattottolera obuzibu bwe yayitamu ng’anoonya ekika kye. Nti olumu Rema yasisinkana Ssenga we Nabatanzi ku...

Laga 220x290

Rema yasoose kukolebwako mikolo...

E Kyengera mu wiiki eddirira emikolo, Rema yasoose kukolebwako mikolo gya buwangwa okwanjula Hamza, Rema yali ne...

Buuza 220x290

Embaga ya Rema eriko ebibuuza

Kirumira yagasseeko nti ennaku z’omwezi baakuzitegeeza abantu mu kiseera ekituufu; n’annyonnyola nti enteekateeka...