TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebintu 10 ebivaako abakazi okwetamwa akaboozi

Ebintu 10 ebivaako abakazi okwetamwa akaboozi

By Musasi wa Bukedde

Added 15th October 2019

Omukazi ayinza okukyawa akaboozi oba obutabeera mu mbeera za kwegatta olw’ensonga ezitali zimu.

Tteeka1 703x422

Bano baabadde ku bbiici e Nabugabo ku lw’Ameefuga.

OBUFUMBO KUBA KUTEESA

Rashid Lukwago abuulirira n’okuwabula abafumbo yagambye nti, obufumbo kuba kuteesa ky’ova olaba omuntu atali mwetegefu kugumira ebisoomooza mu bufumbo talina kubupapira.

Ekituufu kiri nti omusajja asobola okukaka mukyala we nga tabadde mu muudu, ekitali kya bugunjufu era omusajja alimu empeke oba eyakuzibwa tasobola kukikola kubanga akaboozi mu bafumbo kasaana era kinyuma nga mwembi muli mu mbeera ya kwegatta.

 Kyokka ne bwe wabaawo okusoowagana tekiba kituufu ensonga okuzitwala ku poliisi, Olina okukimanya nti, ng’omuntu bw’aba ng’alina ekintu ky’ateekeddwa okukola, naye olunaku ne lukya nga tali mu mbeera za kukikola n’omukyala bw’asobola okukeera nga tali mu mbeera za kwegatta.

Lukwago agamba nti omukazi ayinza okukyawa akaboozi oba obutabeera mu mbeera za kwegatta olw’ensonga zino wammanga.

1 Ssinga abaako aliko ekyamunyiizizza. Omukyala ng’omuntu yenna asobola okufuna ekimunyiiza nga yeetaagamu obudde asobole okudda oba okutereera mu mbeera ze. Ssinga omusajja amukaka nga tayagala kwegatta tekiba kya buntubulamu era waba weetaagawo omusajja okwetondera omukyala oyo kuba omumazeeko eddembe lye ery’okwesalirawo.

2 Obulwadde. Bulijjo omuntu bw’aba teyeeyagala bulungi mu bulamu katugambe nga mulwadde kyetaagisa omusajja okutegeera embeera y’obulamu bwa munne n’amwesonyiwamu olunaku olwo.

3 Obwavu. Obuvunaanyizibwa bw’omusajja alimu empeke kuba kulaba nti atuusa ku mukyala we ebyetaago ng’omuntu ne mu maka okutwalira awamu. Naye obwavu bwe buba awaka, omusajja nga tasobola kuwa mukyala we by’ayagala ate nga n’abaami abamu balina omuze ogwekambuwaza mu mbeera eno, ekivaako omukyala kwetamwa nga ne bwe kaba kaboozi tayagala.

 

4 Obwenzi. Omusajja ssinga abeera n’abakyala abalala omukazi n’akitegeera oba ne bw’aba afunyeemu okwekengera mu ntambula za bba nti ayinza okuba nga yatandika obwenzi asobola okwetamwaokwegatta n’omusajja oyo kubanga naye muntu atya obulwadde era omusajja okugezaako okumukaka akaboozi kiba kikyamu.

5 Obucaafu. Omusajja oba omwami bw’aba mucaafu ekisukkiridde katugambe nga tayagala kunaaba, okusenya n’okweyonja, kivaako omukyala okumwenyinyala era kimwetamya okwegatta naye.

6 Abasajja abamu obutamanya bye bakola. Ne bwe guba mupiira omuntu ayagala okuzannya n’omuntu amunyumisiza omuzannyo era bw’aba gw’azannya naye nga tanyumisa, kyangu okwetamwa omuzannyo.

Ne ku basajja abamu bweguli. Mu mbeera z’omu buliri tebategeera bulungi bye bakola nga n’abalala tebaagala ekireetera abakyala okwetamwa okwegatta nabo.

7 Ebirowoozo oba situleesi. Omukazi asobola okugaana okwegatta olw’embeera gy’alimu. Jjukira nti okunyumya akaboozi, ebirowoozo birina okubeera ebitebenkevu olwo n’alyoka anyumirwa kyakola era ssinga omukazi abeera n’ebimutawaanya ku mutwe, kyangu okwetamwa akaboozi wadde omuntu we abeera amwagala.

8 Sitayiro y’omusajja gy’akozesa. Omukazi ayinza okubeera nga ekyamazima yandibadde yeetaaga okwegatta kyokka ng’akakodyo omusajja k’akozesa omukazi takaagala. Kino kimuleetera okwetamwa ebyokwegatta.

9 Obunene bw’omusajja. Omukyala asobola okufuna omusajja ng’amwagala n’asalawo n’agumira byonna ebimuliko. Okugeza, omusajja bw’aba munene mu sayizi omukazi ayinza obutamusuulawo naye n’asalawo yeegatte naye ennaku nga nnya mu wiiki nga ky’ajja okusobola era ssinga omusajja akivaako n’amukaka okwegatta olunaku lwe batalina kwegatta kiba kikyamu.

10 Abasajja abatamanyi kuteekateeka bakazi. Omukazi okwegatta kirina kuviira ddala mu bwongo olwo n’ebitundu ebikozesebwa okwegatta ne bifuna obubaka era ne bibeera nga birindirira.

Era kino kibaawo ssinga omusajja abeera tatutte budde n’ateekateeka bulungi omukyala, kyangu omukyala obutanyumirwa ky’akola oluusi n’okufuna ebizibu ng’amabwa mu bukyala.

Noolwekyo abasajja abafubutukira abakazi nabo babaviirako okwetamwa okwegatta.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

U 220x290

Abazannyi ba Arsenal baboola Aubumeyang...

Agava mu Arsenal galaga nti abazannyi abamu si basanyufu na kyakoleddwa mutendesi Unai Emery okulonda Aubameyang...

14807561277401561480756273noticianormalrecorte1 220x290

Capello ajereze Ronaldo: 'Mu myaka...

Eyaliko omutendesi wa Juventus Real Madrid ne Bungereza, Fabio Capello alumbye Cristiano okuba omwavu w’empisa....

Papa 220x290

Ronaldo ne Sarri batabuse

Wazzeewo obutakwatagana wakati wa Cristiano Ronaldo n’omutendesi wa Juventus, Maurizio Sarri.

Lumba 220x290

Mourinho akoonye Guardiola

Akakuku ka Jose Mourinho ne Pep Guardiola tekasuubirwa kuggwaawo.

Duka1 220x290

Eyabbye omwana bamusanze ne bba...

OMUKAZI eyabbye bbebi wa munne ow’emyezi esatu n’amutwalira omulenzi gwe yalimba olubuto, Poliisi yamulinnye akagere...