TOP

Muggya wange annumba ewange n'anvuma

By Musasi wa Bukedde

Added 16th October 2019

Muggya wange asusse okunvuma buli lw'ansanga ate ng'annumaba wange. Buli lwe mbuulira omwami waffe agamba nti mwesonyiwe naye mpulira nkooye.

Ssengalogo 703x422

Muggya wange atera okunnumba ewange n’anvuma. Nze mukyala nnamba bbiri era baze yambuulira nti gyali.  Omukyala ono buli lw’ansanga anvuma n’ansooza nga sirina kye mmukoze. Buli lwe mbuulira omwami waffe ng’agamba nti mmuleke simuddamu naye mpulira nkooye kuba kati emirundi esatu.

BBAmmwe mutuufu era ono olina okumwesonyiwa n’otomuddamu. Abakyala bangi banyiiga ng’abaami bafunye abakyala abalala, naye obusungu buno bw’obuteeka ku mukyala ono ate ng’omwami amwagala oba omala budde kuba oluusi omukyala ono aba talina musango kubanga baakwana mukwane. 

Omusajja gw’olina okuteekako obusungu lwaki yafuna omukyala omulala? Abamu oluusi baba tebaagala kufuna bakyala balala naye babafuna lwa mize gyammwe ne basalawo okufuna abanaabawummuza ebirowoozo.

Sigamba nti nkiwagira omusajja okufuna omukyala omulala naye oluusi waliyo ebireetera abasajja okukola kino. Kati empisa z’omukyala ono alumba n’abalala n’abavuma awatali nsonga zirabika si nnyangu.

Oli waddembe okumuloopa kuba akulumba wuwo era ky’akola kimenya mateeka. Ono alina kubeera mu maka ge ne kimulumira eyo okusinga okukulumba mu maka go. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paska 220x290

Mukoka asse omukadde

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Kaliisizo South mu Kalisizo Town Council mu disitulikiti y'e Kyotera,...

Fari1 220x290

Laba amaziga g’essanyu.

Munnakatemba era omuzannyi wa firimu Faridah Ndausi bamukoledde akabaga k'amazaalibwa nga takasuubira, akaabye...

Mbarara City ekutte Nkata ku nkoona...

Brian Ssenyondo akomezeddwawo okutwala Mbarara City mu maaso oluvannyuma lw'okukwata Nkata ku nkoona.

Buloba1 220x290

Blick afunzizza engule y'ezaakafubutuko...

Blick kati abuzaayo empaka za mirundi 2 (Kapeeka ne Boxing day)okulangirirwa nga kyampiyoni w'ezaakafubutuko....

Img3804webuse 220x290

Ekivvulu kya Toto kiri mu ggiya...

Ekivvulu ky'abaana ekya ToTo ekitegekebwa Vision Group kyengedde nga kati olwa December 8 lwe lulindirirwa lwokka...