TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Abaana bwe baalwala baze n’atukyawa

Abaana bwe baalwala baze n’atukyawa

By Musasi wa Bukedde

Added 19th October 2019

ABAANA be tuzadde n’omusajja gwe nnasuubira okunkuuma mu buli ngeri bw’akizudde nga balwadde ba siikossero ate nga nange omutima mulwadde n’ansuulawo. Nze Lydia Nambuusi 27, mbeera Katooke mu divizini y’e Kawempe.

Buuza 703x422

Baze omuvuzi wa bboodabbooda era okunkwana yansanga mbeera mu maka ga bazadde bange. Obufumbo twabutandika mu 2011 bwe yapangisa omuzigo mwe twazaalira omwana waffe omulenzi eyasooka mu 2012.

Omwana ono yalwalalwalanga era nga tumujjnjaba. Mu 2017 nazaala omwana omuwala kyokka naye n’alwala obulwadde obutaalina njawulo na bwa mukulu we.

Wano nange nnali ntandise okwewuliramu obulwadde ng’entunnunsi zibeera zinkuba kumukumu.

Mu ddwaaliro e Mulago abasawo gye bantegeereza nti abaana bombi baali balwadde ba siikossero.

Nze baansindika ku gye bakeberera abalwadde b’emitima era ne bantegeeza ng’omutima bwe gwali omulwadde n’ebisenge by’omutima byagaziwa ate nga n’ekitundu ekimu kyanafuwa.

Bantegeeza mu ddwaaliro nti buli omwana omu bw’alwala, twanguyenga okumutuusa mu ddwaaliro bamukebere obungi bw’omusaayi.

Kino kisasulirwa 10,000/- sso nga n’eddagala omusawo alituwandiikira ne tulyegulira okuva ebweru w’eddwaaliro. Wano baze we yalagira nti ankooye n’alekeraawo n’okusasula ennyumba.

Yandeka mu muzigo nga tambuuulidde ne mbonaaboba n’abaana nga simanyi na gye yalaga kati myezi mukaaga.

Nalaba embeera enkaluubiridde ne hhendako ewa taata e Katooke gye nnamala emyezi esatu.

Bwe yamanya nga mu muzigo nvuddemu n’adda kyokka bwe nnaddayo natandika okumpalana nga ne bwe mubuuza tanziramu wadde okutufaako n’abaana baffe.

Buli luvannyuma lwa myezi mukaaga hhenda e Mulago ne nfuna obujjanjabi bw’omutima ate nagwo okukeberebwa era buli lwe nkeberebwa nsasula 50,000/-.

Abasawo bangamba nti obujjanjabi obwange bwokka ku mutima bwakumalawo 7,000,000/- ze sirina ssuubi kufuna.

Nsaba Katonda amponye n’abaana bange ndabe baze bwanaatutunulako. Nsaba abazirakisa bannyambe okunsondera ku nsimbi mpone ndabirire baana baze be yandekedde.

Obuyambi musobola okubuyisa ku ssimu zino, 0754786296 nga ya taata, Stephen Ssempeewo ne 0779513650 nga ya maama, Gloria Lovisa Kasemeire.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssekamanya00webuse 220x290

Obutabanguko mu maka bwongedde...

Omusumba eyawummula, Mathias Ssekamaanya asabye abafumbo okufunaolunaku bakubaganye ebirowoozo ku ntambula y'amaka...

Kib2 220x290

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi...

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi zikuwa obukadde 4 bw'ozikamulamu butto ? Soma emboozi y'omukenkufu

Mesachssemakulanemukyalawe 220x290

Mesach njagala mbaga

Sarah Nakkaayi mukyala w'omuyimbi Mesach Ssemakula (Golden Papa) ateze bba akamasu. Amusuddeko akabaga k'amazaalibwa...

Dit2 220x290

Noah Kiyimba asabye abakulembeze...

Noah Kiyimba asabye abakulembeze b'e Butambala okkolera awamu

Ta 220x290

Bannansi beesiga bakulembeze ba...

POLOF. Julius Kizza okuva mu yunivasite e Makerere agambye nti bannansi okumanyisibwa ebifa mu gavumenti tekubeera...