TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Muggya wange annumba ewange n’anvuma

Muggya wange annumba ewange n’anvuma

By Musasi wa Bukedde

Added 19th October 2019

MUGGYA wange atera okunnumba ewange n’anvuma. Nze mukyala nnamba bbiri era baze yambuulira nti gyali. Omukyala ono buli lw’ansanga anvuma n’ansooza nga sirina kye mmukoze. Buli lwe mbuulira omwami waffe ng’agamba nti mmuleke simuddamu naye mpulira nkooye kuba kati emirundi esatu.

United 703x422

BBAMMWE mutuufu era ono olina okumwesonyiwa n’otomuddamu.

Abakyala bangi banyiiga ng’abaami bafunye abakyala abalala, naye obusungu buno bw’obuteeka ku mukyala ono ate ng’omwami amwagala oba omala budde kuba oluusi omukyala ono aba talina musango kubanga baakwana mukwane.

Omusajja gw’olina okuteekako obusungu lwaki yafuna omukyala omulala? Abamu oluusi baba tebaagala kufuna bakyala balala naye babafuna lwa mize gyammwe ne basalawo okufuna abanaabawummuza ebirowoozo.

Sigamba nti nkiwagira omusajja okufuna omukyala omulala naye oluusi waliyo ebireetera abasajja okukola kino.

Kati empisa z’omukyala ono alumba n’abalala n’abavuma awatali nsonga zirabika si nnyangu.

Oli waddembe okumuloopa kuba akulumba wuwo era ky’akola kimenya mateeka. Ono alina kubeera mu maka ge ne kimulumira eyo okusinga okukulumba mu maka go.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lionelmessifansmockcristianoronaldoafterargentinastarscoresagainsturuguay1206166 220x290

Messi n'era ayongedde okusiiwuuka...

Yateebedde Argentina ggoolo eyagiyambye okulemagana ne Uruguay (2-2) ku Mmande kyokka n’agugulana n’omuteebi wa...

Griezmannsad 220x290

Barcelona nzibu kuzannyiramu -...

Kyaddaaki Antoine Griezmann akkirizza nti Barcelona y’emu ku kiraabu ezisinga obuzibu okuzannyiramu omupiira.

Jose 220x290

Munnayuganda alidde obusumba e...

PAAPA alonze Munnayuganda Msgr Joseph Kizito okuba omusumba w’essaza lya Klezia ery’e Aliwal e South Afrika.

Abamukubasuubuzingabakunganyaembiddemukifokyamatookegebattikanga 220x290

Ekirwadde ekikwata ebitooke kitiisizza...

Ekirwadde kino kisensera ekikolo ky'ekitooke era kw’omanyira nti kikwatiddwa ekirwadde kino endagala zaakyo ziwotookerera...

Abamukubasentebengabalimulukiikoenakulabye1 220x290

Bassentebe ba LC1 ne 2 bakukkulumidde...

Stephen Nsereko ssentebe w’ekibiina ekigatta bassentebe b’ebyalo n’emiruka mu Kampala yategeezeza nti gavumeti...