TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Eyanzigya mu ssomero yandekera abaana

Eyanzigya mu ssomero yandekera abaana

By Musasi wa Bukedde

Added 19th October 2019

NZE Phiona Namugaya, mbeera Butekanga e Bugulumbya mu disitulikiti y’e Kamuli.

Gulawo 703x422

Namugaya ku kkono.

Nafuuka maama wa baana basatu era nnabazaala omulundi gumu nga kati bawezezza emyezi 3.

Bagamba nti abaana kirabo okuva eri Katonda naye nze mu kiseera kino mpulira nzitoowereddwa era nsaba abazirakisa okunziruukirira na buli kimu oli ky’aba asobodde nsobole okukuza abaana bange .

Nnali nsoma P6 mu kyalo ewaffe, ne nfuna omuvubuka eyansigula ne tutandika okwagalana.

Omuvubuka ono yali musiisi wa chapati mu ka tawuni okumpi n’awaka. Nafuna olubuto nga wayise ekiseera era essomero bwe lyakimanya ne bangoba.

Naddayo ewa maama era eno okubonaabona kwange we kwatandikira anti ng’omulenzi eyansigula takyandabawo.

Olubuto lwakula okutuuka mu myezi munaana kyokka nga sirinaawo wadde akagoye ak’okulererako abaana bange. Awaka tetwali bulungi ate n’omulenzi naye yali aneesambye.

Ekyasinga okusajjula embeera lye ddwaaliro mwe nanyweranga eddagala okukantema nti nnina abalongo kyokka ku ssaawa esembayo ne gujabagira bwe nazaala abaana basatu.

Omulenzi eyanfunisa olubuto bino olwamugwa mu matu n’adduka n’okutuusa kati simanyi gy’ali.

Ekiseera kyatuka ne maama naye n’anzitowererwa n’ahhamba hhende gye bazaala omulenzi era awo kwe kugenda ewa nnyazaala wange gye mbeera na buli kati kyokka ng’ekyamazima embeera si nnungi.

Nsaba abazirakisa okunziruukirira mu ngeri yonna ku ssimu nnamba 0775853982.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono