TOP

Omukazi annangira obwavu

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd October 2019

Ssenga, mukyala wange simutegeera bulungi. Okusookera ddala yali mukyala muwulize naye kati tawulira n’akamu. Bw’omugambako ng’atandika okuyomba. Mbadde sirina ssente ennaku zino nga sirina mulimu naye buli kiseera anvuma obwavu.

Blackcouplearguin10 703x422

Abaagalana nga bayomba.

Ssenga, mukyala wange simutegeera bulungi. Okusookera ddala yali mukyala muwulize naye kati tawulira n’akamu.

Bw’omugambako ng’atandika okuyomba. Mbadde sirina ssente ennaku zino nga sirina mulimu naye buli kiseera anvuma obwavu.  

Kati n’okwegatta tayagala era buli kiseera ang’amba nti agenda kundekawo. 

Atandise okugula engoye naye simanyi ssente gy’aziggya kubanga atuula waka naye oluusi simusangawo. Bwe mmubuuza agamba nti sirina kumanya.

Ssenga nkoze ntya? Okunvuma waakiri nsigala obwomu kubanga era simulinaamu mwana. Mmaze naye emyezi mukaaga.

 

Mwana wange bw’olaba ng’omukyala oba omusajja akuvuma obwavu mu butuufu abeera akwetamiddwa. Ate oluusi y’embeera gye mubaamu naye nga munno teyandifulumizza kigambo ng’ekyo.

Kubanga osobola okukyogera ne munno nga muteesa nti owange ssente nga zibuze oba tukoze tutya.

Naye oyo avuma aba akoze bubi. Kubanga amaka mangi mu Uganda kigambo kubulwa ssente kya bulijjo. Naye okuvuma munno nti mwavu kyokka nga yaliko ne ssente era ne muzirya mwembi si kya buntubulamu.

Kitegeeza nti omuntu oyo okusinga ayagala ssente zo. Era bw’oba tolina ssente talaba mugaso gw’olina gy’ali. Naye ssente bakola nkole.

Kati mwana wange oba ono ayambala n’engoye ez’ebbeeyi ate ng’oluusi okomawo nga taliiwo kitegeeza nti atandise okufuna ssente mu makubo amalala.

Ayinza okuba ng’alinayo omusajja omulala. Omanyi omukyala bw’atandika obutakulabawo oba omusajja bw’atandika okufulumya ebigambo ng’ebyo ng’omanya nti alina amusigula. 

Bw’oba tolina mirembe, sooka omubuuze lwaki akuyisa bwatyo. Bw’olaba ng’akubadala, tandika okwetegereza empisa era bw’oba olaba nga tojja kumusobola ng’omwesonyiwa.

Ate olabika wapapa kubanga ow’emyezi omukaaga ng’akedde okukujooga. Ddaala ono anaafumba? Oba yakunoonyaako ssente? Weetegereze.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abataka1webuse 220x290

Tetugenda kusirika ng'ebika bisereba...

Bakatikkiro b'ebika balayidde obutaleka bika kusereba ne basalawo okwegatta bakolere wamu okubitumbula

Muzaata 220x290

Ebyabadde mu nsisinkano ya Museveni...

Pulezidenti Museveni asisinkanye akakiiko ka poliisi akafuzi n’alagira abaserikale essira balisse ku kulwanyisa...

Lim21webuse 220x290

Engeri gy'olimira mu kkutiya okufuna...

Omusomesa akulaga bw'akozesa ebikutiya okukola ssente mu kulima enva endiirwa

Bebi 220x290

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu...

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu

Pawa4 220x290

Gav't etongozza enteekateeka ya...

MINISITA w'eby’amasanyalaze n’obugagga bw’omuttaka Eng. Irene Muloni atongoza entekateeka empya gavumenti mwegenda...