TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Abakazi abannyogoga ebisambi eddagala liirino

Abakazi abannyogoga ebisambi eddagala liirino

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd October 2019

Kiba kirungi omukazi naddala awezezza emya 40 okwesogga obuliri nga bukyali omusajja akusangeyo. Kubanga kitwala akaseera okuzimba ebbugumu mu bisambi erisanyusa abasajja.

Zuukuka2 703x422

Abaagalana mu kitanda

Kiba kirungi omukazi naddala awezezza emya 40 okwesogga obuliri nga bukyali omusajja akusangeyo. Kubanga kitwala akaseera okuzimba ebbugumu mu bisambi erisanyusa abasajja. Bino bye byazuuliddwa omusawo Clare Morrison, owa online pharmacy MedExpress.

Wabula era yagambye nti abakazi abali mu myaka gino ebbumu ly'omu bisambi byabwe lijja mpolampla, naye ate bwe libabugaana, lirwawo okubaggwaamu. Kubanga ku myaka gino emibiri gyabwe giba gifunye ggiribwa y'amasavu agakuuma ebbugumu  obutamala gabatolokako.

Ate n'ekirala nti nabo bennyini baba balina obukodyo obukuuma ebbugumu lino ng’obutayambala nkunamyo z'engoye ze basulamu (eza nayiti) gattako okusula nga beesabise ng'abali mu mbeera y'okwekoona akagere naddala mu nnaku ze bamanya nti banaasula n'abasajja baabwe.

Abasawo bagamba nti eky’ozimba ebbugumu empolampola ate ne balinyweza nnyo nga lizze kya butonde. Nga kiva kukuba nti omubiri gw'omukazi gulimu amasavu mangi era ng’akasusu akagabisseeko katono naddala mu bitundu ebyo ebikola akaboozi. Kale okukuuma amasavu ago gakwate ebbugumu kitwala akaseera kubanga mangi. Ate bwe gamala okucamuka, tegafulumya mangu bbugumu lino.

Abasawo kye bava bawa abakazi amagezi, naddala abali mu myaka gino nti kyandibadde kirungi okwesogganga ekitanda nga ba bbaabwe tebannayingira buliri; kibayambe okukuuma essigiri y'ebbugumu mu bisambi byabwe. Abasajja bwe  bayingira okutandika omuzannyo nga bo abakazi baayase dda. Waakiri weerwaza naye ng’onoonya kumusooka mu kitanda. Omusajja bw’aba akyalaba mupiira ku ttivvi, ggwe omukazi ne bwe guba gukunyumira gutya, weesumagize weebikke nga ye akyalobye ku ttivvi; okuume essigiri yo agisange nga eteta.

Nti era abakazi abaabuulirirwa ku nsonga eno obalabira ku kwambala ngoye mpavu, okwesiba ebikooyi n'okutegeka obuliri nga bataddeko bbulangiti, amasuuka ate ne bbeedikkava.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamukubasuubuzingabakunganyaembiddemukifokyamatookegebattikanga 220x290

Ekirwadde ekikwata ebitooke kitiisizza...

Ekirwadde kino kisensera ekikolo ky'ekitooke era kw’omanyira nti kikwatiddwa ekirwadde kino endagala zaakyo ziwotookerera...

Abamukubasentebengabalimulukiikoenakulabye1 220x290

Bassentebe ba LC1 ne 2 bakukkulumidde...

Stephen Nsereko ssentebe w’ekibiina ekigatta bassentebe b’ebyalo n’emiruka mu Kampala yategeezeza nti gavumeti...

Omusajjangasimuulaengatozomulangiraherbertkimbugwe2 220x290

Bayiiyizza obukodyo bw’okuggya...

Abamu ku bagenyi abaabaddewo mwe mwavudde abasajja babiri abaakutte obutambaala nga buli munnabyabufuzi asituka...

Ssengalogonew 220x290

Emyezi ebiri sigenda mu nsonga...

Ndi muwala wa myaka 21. Nneegatta oluvannyuma ne ng'enda mu kalwaliro ne ngula empeke okwetangira okufuna olubuto...

Matovu002 220x290

Abasajja abanoonya embooko z'abakazi...

Twagala abakazi abeetegefu okukola obufumbo ate nga bamamyi omukwano