TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Engeri gye musobola okuzza omukwano mu bufumbo bwammwe

Engeri gye musobola okuzza omukwano mu bufumbo bwammwe

By Musasi wa Bukedde

Added 30th October 2019

 Manya ekizibu we kiva. Tosobola kunogera kizibu ky’otomanyi ddagala, noolwekyo omukyala oba omwami ng’owulira obufumbo okyabwagala, noonyereza ekizibu kwe kiva okisalire amagezi.

Happyblackcouplebedlaptophomeafricanamericanbrowsinginternetcopyspace126309890 703x422

ENGERI GYE MUSOBOLA OKUZZA OMUKWANO MU OBUFUMBO BWAMMWE

 Manya ekizibu we kiva. Tosobola kunogera kizibu ky’otomanyi ddagala, noolwekyo omukyala oba omwami ng’owulira obufumbo okyabwagala, noonyereza ekizibu kwe kiva okisalire amagezi.

 Weewale okukozesa okuyomba okugonjoola ensonga. Okugeza, ssinga munno abadde akomawo nga bukyali n’atandika okudda nga buyise ate bw’adda totandikira mu kumuyombesa lwaki aluddeyo. Mubuuze gy’abadde era omulage nti obadde otidde nnyo nga tomulaba.

 Yogera ne munno. Obutakkaanya bwe bubalukawo bulina kusooka kumalwawo bantu babiri. Abantu abamu balina omuze ogutwala ebintu nga ebyomuzannyo ne weekanga nti gwe ky’olaba ng’ekitono munno akitwala nti kinene era kimunyiiza.

 Okuddamu okumanya obuvunaanyizibwa bwo ng’omuntu. Ebiseera ebisinga obufumbo butandika okuyuuga ssinga omu atandika okwerabira obuvunaanyizibwa bwe. Okugeza, omusajja nga mu kisenge obuvunaanyizibwa tokyabutuukiriza oba awaka tokyawaawo budde si nakindi ng’omukyala awaka y’atakyakola by’alina kukola.

TEWEESIBA MU BUFUMBO BWA MAZIGA

Edith Mukisa agamba nti kituufu okufaayo ku kitiibwa abantu kye bakuwa kyokka era omuntu talina kukyewala nti obufumbo bukolebwa kwagalana okubeera wakati w’ababiri.

Era bwe kuggwaawo mulina okulwana ne kuddawo nga muyita mu kwebuulirira n’okubuulirirwa.

Naye byonna ssinga bigaana tewali nsonga lwaki oswala okuva mu kintu ky’okaabiramu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab12 220x290

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e...

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e Mityna kuzzeemu kigoye wezinge

Gwe1 220x290

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo...

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo omwana we ew'omusamize bamusadaake

Nkumba2jpgweb 220x290

Abadde ayingira mu ofiisi z'ebizimba...

Allan Nkumba omutuuze w'e Kabowa mu Sserwadda zooni ye yakwatiddwa poliisi ya CPS ku Lwokusatu oluvannyuma lw’okugenda...

Sjpgweb 220x290

Eyanfunira omulimu mufiirako

Nze Innocent Katusiime 29, mbeera Nakawa. Buli lwe ndowooza ku ngeri gye nnasisinkanamu maama w’omwana wange essuubi...

Nsamba22pulaaniusewebuse 220x290

Mukuume obumu musobole okwekulaakulanya...

Ab'ekika ky'Engabi beetaaga obukadde 13o okuzimba ekiggwa kyabwe