TOP

Lwaki omwana takula bulungi?

By Musasi wa Bukedde

Added 30th October 2019

NNINA emyaka 23. Waliwo omusajja omukulu gwe nnayagala ne nfuna olubuto naye omwana takula bulungi. Omwami ono yali wa myaka 83 era kati yafa naye abeewaabwe omwana bamumanyi. Omwana kati wa myezi munaana naye tasobola kutuula yekka mba nnina kumuzizika.

United 703x422

Namutwalako ewa ssenga we n’ang'amba nti kirabika omwana si waabwe kubanga tebalina baana balema waabwe. Kati nkoze ntya kuba omwana ansobedde. Ntambudde naye tafuna njawulo.

AMAGI g’abasajja abakulu oluusi tegavaamu baana balamu bulungi. Ekirala olina okumanya nti teri kika kitavaamu balema oba abalina ebizibu nga bino.

Sigaanyi waliyo obulwadde nga bwa mu musaayi nga ssikoselo naye kumpi buli kika kirinayo ekitatuukiridde nga mu musaayi.

Ebiseera ebisinga ssingwa omwana azaalibwa ng’aliko obulemu oba ng’alina ekizibu, abaffamire tebaagala kumukkiriza nti waabwe. Era okilraba nti oluusi n’omusajja ayinza okukuleka singa ozaala omwana alina ekizibu.

Teri ayagala buvunaanyizibwa ku mwana ng’ono. Abaana ng’abo batera kubasibira mu bisenge kuba baba babaswaza.

Ogambye nti otambudde olw’omwana ono naye abamu batambulira mu masabo n’okweraguza ng’ate kya butonde omwana okuzaalibwa bwatyo.

Genda mu ddwaaliro eddene olabe omusawo akola ku baana ajja kukuyamba. Oluusi n’endya embi ereeta obuzibu.

Ssenga sooka omwesonyiwe oyambe omwana wo kubanga kati oli wekka. Nkubira essimu nkuyambe ku musawo gw’olina okulaba. 0772458823.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...