TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Muganda wange alabika anjagalira omusajja

Muganda wange alabika anjagalira omusajja

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd November 2019

MUGANDA wange alabika anjagalira omusajja kuba mmaze ebbanga nga mbalaba. Buli kiseera omwami wange agamba nti abaddeko naye. Ekirala waliwo ebintu ebibeera ewaffe, mba sinabimugamba nga ye yamugambye dda. Lumu nnali siriiwo n’ahhamba nti agenda mu mizannyo ne muganda wange. Bwe namubuuza lwaki abeera nnyo ne muganda wange n’agamba nti, “ Ndaba tewali njawulo. Oba ali nange oba ali ne muganda wange. Bino njagala kubivaamu naye omusajja mmwagala.

Senga1 703x422

NGA tonnabivaamu, sooka weetegereze oba ddala omwagala. Ekirala oli waddembe okubuuza muganda wo ku nsonga eno ne by’omanyi by’azze akola naye nga ky’onoonya kumanya kituufu.

N’ekirala mugambe nti embeera ze ne muganzi wo tozitegeera bulungi. Bwakuddamu kigenda kukuwa ekituufu.

Bw’olaba ng’abireetamu obusungu ng’omanya nti alabika amwagala. Ne muganzi wo mubuulize ddala era bwagamba nti tewali njawulo ategeeza ki?

Kubanga kirabika omukwano gwabwe gusobola okuba nga gwakatandika oba nga bali awo tebamanyi kye baliko naye nga basobola okubeera mu mukwano. Muganda wo okubeera ennyo ne muganzi wo si kirungi.

Omusajja oba ye yakwana muganda wo n’akkiriza, kiba kya bujoozi.

Bw’olaba nga tebikugendera bulungi, biyingizeemu abazadde oba abantu be mwesiga bababuulirire.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...