TOP

Obufumbo bw’emiggo bwannema

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd November 2019

NZE Mariam Kagoya, 44, mbeera Komamboga mu Kawempe. Mu buvubuka bwange, nafuna omusajja eyahhamba nti bwatunula mu nsi yonna nze mukazi gw’asaana okuwasa.

Koma 703x422

Kagoya

Okumanya abakazi tulimbibwa, nange nnalaba nga ky’ayogera akikakasa wamma ne ngwa amatu.

Olw’essanyu lye nnafuna, nnabuulirako bazadde bange kyokka ne bang'aana okufumbirwa nga bagamba nti nkyali muto era sinatuuka kufumbirwa.

Ebigambo byabwe saabitwala nga ndabira ddala nti tebanjagaliza era ne nsalawo okugenda ne kabiite wange.

Twatandika obufumbo era ng’andabirira mu buli kimu era ne tuzaala n’abaana babiri wabula omu n’atufaako.

Ekiseera kyatuuka n’atandika okunywa omwenge eyali agula ebintu awaka n’abivaako. Yatandika okunkuba emiggo nga ne bwe tubeera ku bugenyi tekimugaana kunkubirayo.

Natandika okwebuuza gye yajja empisa zityo wamma ne nsoberwa kuba teyazindagirawo mu kusooka.

Natuuka ekiseera nga buli lw’adda awaka n’omutima guntyemuka kuba yatandikiranga ku kantu katono n’ankuba. Oluusi ng’akonkona nga nneebase era w’omuggulirawo ekikwaniriza zibeera mpi.

Emyaka mwenda gye nnamala naye, yankuba ne mpulira ng’obufumbo buntamye era ne nsalawo okumuviira nsobole okutaasa obulamu.

Naguma nga sirina musajja yenna okutuusa mu 2013, Katonda bwe yandeetera Arthur eyansangula amaziga kuba ano ategeera bwe bakwata omukyala.

Tuteesa, tankubangako wadde okunvuma. Abawala abatannafumbirwa, mbasaba bawulirize ebigambo by’abazadde kuba bwe baba bakugaanyi okufumbirwa tobawakanyanga kuba oyinza okutuuka mu bufumbo ne wejjusa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...