TOP

Owange Katondayamumpa nga kirabo

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd November 2019

NZE Ghetto King Samiyo 27, ndi muyimbi mbeera Masajja B. Nga naakavubuka nali neegomba okufuna omukyala anampa essanyu n’emirembe.

Gamba 703x422

Samiyo

Katonda mmwebaza nti gwe namusaba yamumpa era mmwenyumirizaamu kubanga yakyusa obulamu bwange.

Twasisinkana ku kabaga ka mukwano gwange era olw’endabika ye, yansikiriza, bwentyo ne nsalawo okwogerako naye.

Twatandika okwogerezeganya ku ssimu n’okweraba twongere okwemanya.  Oluvannyuma twasiimagana ne hhenda mu bazadde be.

Baatuwa omukisa gw’obufumbo bwaffe.Twakamala mu bufumbo emyaka 6 n’abaana babiri.

Ekisinga okunjagaza mukyala wange kwe kuba nti antegeera nnyo era n’engeri gy’ampisaamu okusingira ddala obwesigwa bw’anteekamu newakubadde ali Bulaaya gy’akolera.

Mukyala wange mukozi ate ayagaliza buli muntu. Amazima ono wanjawulo ku bakyala abalala era tukwasaganyiza wamu. Tukoze ebintu bingi ebiraga nti tugenda mu maaso.

Ebbanga lye mmaze ne mukyala wange tetufunanga butakkaanya buyinza kutwawukanya wadde obutonotono tebubulamu era tubugonjoola nga abafumbo.

Yadde mukyala wange yagenda Bulaaya, tatusuulirira era agera akabanga n’akomawo okutulabako n’okumanya embeera gye tulimu n’abaana.

Nsaba Katonda amunkuumire era naye mmusaba anneekuumire kuba nange kye nkola

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...