TOP

Omuwala nnamukyawa lwa butasiima

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd November 2019

OKWEBAZA omuntu ssinga Isabirye aba alina kyakukoledde kikulu kubanga ekyo kye kimuwaliriza okuddamu okukuyiiyiza ebirungi ebirala. Nze Habib Isabirye 24, mbeera Mukono.

Kola 703x422

Oluvannyuma lw’okuzuula ekyama mu mwana muwala gwe nnali nsiimye, yakkiriza okutandika omukwano nange.

Twayagalanira mu bugubi obw’ekitalo kuba omulimu gwe nnali nkola tegwansobozesanga kumumalira byetaago bye byonna.

Yalingawo kuba naye yali akola wadde nga yalinga afuna ssente ntonotono kale nga ffembi tuli bamufunampola.

Twakkanya okubeera ffena naye n’asooka agaana kuba bazadde be baali bakambwe ate nga bamwagaliza omuntu alina ku ssente eziwera.

Baamuwalirizanga okunneesonyiwa naye n’annemerako ekyayongera okundaga nti ddala yali anjagala.

Twafuna ennyumba gye twasobola okupangisa ne tutandika okubeera ffembi mu bulamu obweyagaza.

Omuwala ono yalina empisa, nga muyonjo ate nga tamanyi kuyomba kale sirina muze gwe namusangamu.

Ku busente obutono bwe nnafunanga, nagezangako okumuguliranga obulabo n’okumukyakazaako wabula ng’ekigambo weebale takirina mu kamwa.

Nasooka ne nkyesonyiwa era ne kimpaliriza okwerekereza okubaako ke mmugulira nga njagala okumanya ekituufu kyali wabula nga byonna bya busa.

Okwebaza kuviira ddala ku ngeri omuntu gye yakuzibwa era bwe nnamubuulirira nti munnange omuntu bw’abaako ne ky’akuwadde omwebaza ne ndaba nga takyusa ne neetamwa.

Saddamu kumuleetera kintu kyonna ate ne lufuuka lutalo nga tewali ayagala kutunula ku munne.

Ekiseera kyatuuka ne twekoowa era okukkakkana nga twawukanye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...