TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Obukodyo obuleetera omukyala okuddamu okusaba eky'ekiro

Obukodyo obuleetera omukyala okuddamu okusaba eky'ekiro

By Musasi wa Bukedde

Added 5th November 2019

Obukodyo obuleetera omukyala okuddamu okusaba eky'ekiro

Tip2 703x422

BW’OMANYA ensonga lwaki munno takyafuna bwagazi bw’akwegatta naawe, awo osobola okusala amagezi okuzza embeera mu nteeko.

1 Yiga ebikwata ku bwagazi. Okugeza omusajja oyinza kumusikiriza otya n’afuna obwagazi? Omukwata wa? Omugamba ki? Ssinga bino obiyiga era n’obissa mu nkola ojja kulaba nga munno abadde takyafuna bwagazi agenda akyuka mpolampola.

2 Osobola okwogera n’omusawo we. Bw’aba n’obulwadde nga kkansa, puleesa, ssukaali n’obulala era ng’ali ku ddagala, twala obuvunaanyizibwa oyogere n’omusawo we ku nsonga eno.

Omusajja ayinza okutya okwogera n’omusawo ku nsonga eno, sso nga waliwo eddagala omusawo ly’ayinza okumuwa ne limuyambako.

3 Mukubirize ayogereko n’omukugu mu kubudaabuda abantu. Ono ayinza okumuyamba okumanya awava obuzibu. Oluusi omusajja yennyini ayinza okwesanga nga tamanyi kwe kiva obutaba na bwagazi, naye bw’ayogera n’omukugu kyangu okumulaga awava obuzibu ne musalira wamu amagezi.

4 Obuzibu bwe buba buva ku situleesi oba okutawaanyizibwa mu birowoozo, mufube okulaba nga mukola ku nsonga ezireetawo embeera eno. Guyinza okuba nga mulimu, abaffamire oba obuvunaanyizibwa obulala. Bw’aba nga tasobola kubyewala, kirungi ayige engeri y’okwetetenkanyaamu okubaawo ng’atuukiriza obuvunaanyizibwa bwe bwonna.

5 Mufeeyo okulaba nga mwogeraganya ng’abaagalana ku nsonga zonna. Mujje kwesanga nti bwe munaayogera ku nsonga zonna omuli n’ey’obutafuna bwagazi buli omu ajja kutegeera munne, era kyangu alina obuzibu okuyambibwa.

6 Ekizibu bwe kiba kya bwenzi, kirungi akoseddwa asalewo oba asigala mu mukwano oba obufumbo obwo oba okusalawo okubuvaamu. Obwenzi bumalawo obwesigwa mu mukwano era kiba kizibu ensonga z’ekisenge okusigala nga zitambula bulungi ng’omu oba mwembi temwesigaηηana.

7 Mugezeeko ebintu ebipya mu nsonga z’ekisenge. Jjukira nti oluusi obutabeera muyiiya we wava ekizibu nga munno by’amanyidde takyabyagala. Muyiiye ebipya ebinazza omukwano gwammwe obuggya. Okugeza, mwambalire obugoye obumusikiriza, mwesabire akaboozi, muweereze obubaka bwa laavu ne kalonda yenna anazza ebbugumu mu mukwano gwammwe.

8 Wezze buggya. Bw’oba ogezze nnyo, sala omubiri, yambala mu ngeri esikiriza, bw’oba okuze mu myaka fuba okukola ebyo ebinaakuzza obuto. Wabula weewale okulowooleza munno ssinga olaba nga takyajjumbira kwegatta.

Oluusi eyinza okuba nsonga ndala ate ggwe n’okitwala nti alinayo omukazi omulala, oluusi nga si kituufu. Kirungi mwogere ku mbeera eno

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Zab1 220x290

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza...

Muzaata alabudde abasajja abakandaaliriza abakazi; Tujja kubabaggyako tubawe abeesobola

Nam1 220x290

Laba engeri Rema gye yafaananye...

Laba engeri Rema gye yafaananye nga Malaika ng'ayanjula Hamza

Nabagereka11 220x290

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula...

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula mu bifaananyi

Chile1 220x290

CHILE EGOBYE ABAZANNYI

EKIBIINA ekifuga omupiira mu Chile kigobye abazannyi 20 mu nkambi lwa kuwagira bannansi abeekalakaasa nga baagala...

Ssekamanya00webuse 220x290

Obutabanguko mu maka bwongedde...

Omusumba eyawummula, Mathias Ssekamaanya asabye abafumbo okufunaolunaku bakubaganye ebirowoozo ku ntambula y'amaka...