TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Engeri omugejjo gye gubuzaamu obwagazi mu basajja

Engeri omugejjo gye gubuzaamu obwagazi mu basajja

By Musasi wa Bukedde

Added 5th November 2019

Engeri omugejjo gye gubuzaamu obwagazi mu basajja

Wet2 703x422

Size esukkiridde obunene oluusi eremesa abasajja okunyumya akaboozi

Omugejjo nagwo gulina engeri gye gutta obwagazi. Omusajja bw’agejja oluusi yeesanga ng’obwagazi bw’okwegatta bukendedde. Kino kibaawo kubanga omugejjo ebiseera ebisinga gujja n’endwadde endala ezikosa ensonga z’okwegatta. 10 Takyasikirizibwa kwegatta naawe.

Oluusi omusajja ayinza obutayoya kwegatta na mukazi we oluvannyuma lw’omukazi okukyuka mu ndabika. Kino kibaawo ssinga omukazi aba takyafaayo kwerabirira afaanane bulungi, abamu bagejja ekisusse oluusi ekitta apetayiti y’omusajja.

Noolwekyo bw’olaba nga munno ensonga y’endabika yo agirwako nnyo, tokitwala nti kya kusaaga, bw’oba olina ky’osobola okukola, kikole otaase omukwano gwammwe.

11 Omukwano gwammwe bwegubamu ebizibu. Ssinga mwesanga ng’omukwano n’obufumbo bwammwe bulina ebizibu ebibutawaanya, kiba kizibu omusajja okufuna essanyu, ate omusajja bw’ataba musanyufu tayinza kufuna bwagazi bwa kwegatta.

Era ssinga temutuula kwogera ku nsonga ezo, ojja kwesanga nga mututte ebbanga nga tewali bya kwegatta olwo ng’amaka gatandika okusasika.

12 Omusajja ayinza okukitwala nti omukazi amwagalako kwegatta kyokka, olwo n’agaana okwegatta naye ssinga abeera amunyiizizza, wano abeera akikola nga kibonerezo olw’okuba amanyi nti omukazi ayagala nnyo okwegatta

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lukwago 220x290

‘Twagala kumanya musaala gwa Byamukama’...

LOODI meeya Erias Lukwago ne Male Mabiriizi batutte okusaba mu kkooti nga baagala kkooti ebawe fayiro y’akulira...

Worship 220x290

Abantu beemulugunya ku bukambwe...

BANNAKAMPALA balaze obutali bumativu ku bikwekweto ebikolebwa ekitongole ky’amasannyalaze ekya UMEME ku babba amasannyalaze...

Wash 220x290

Abawala b’e Nansana 2 bafi iridde...

JUSTINE Namigadde 32 yalekawo abaana be n’agenda mu ggwanga lya Saudi Arabia okukola emirimu gya waka ng’asuubira...

Abawala b’e Nansana 2 bafi iridde...

JUSTINE Namigadde 32 yalekawo abaana be n’agenda mu ggwanga lya Saudi Arabia okukola emirimu gya waka ng’asuubira...

Meet 220x290

Bukedde eyanise enguzi mu kufuna...

BW’OSANGA makanika eyeefudde akanikira emmotoka ebweru wa ofiisi ezikola ku bya paasipooti, tosooka kumubamirako...