TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Eyanfunyisa olubuto mu kkanisa yanzirukako

Eyanfunyisa olubuto mu kkanisa yanzirukako

By Musasi wa Bukedde

Added 8th November 2019

NNALI mmanyi nti abantu bye bagamba nti abasajja si beesimbu byabubalimba okutuusa bwe kyantuukako. Nze Juliet Mbwali Biyinzika 19, mbeera Bwaise.

Pita 703x422

Juliet Mbwali ne bbebi we

Enjogera egamba nti tumala kwekoona ne tubuuka entuukirako. Buli lwe nsiriikirira n’amaziga gampitamu olw’embeera gyendimu kati.

Nali mbeera ne muganda wange omulenzi ng’apangisa Makerere. Ekiseera kyatuuka ssente z’obupangisa ne zimuggwaako nnannyini nju n’atugoba.

Ssente ezituzzaayo mu kyalo nazo twali tetuzirina ne tuslawo okuddukira ku kkanisa emu ey’Abalokole e Makerere Kavule kuba twali tukimanyiiko nti waliwo abasulawo.

Omu ku bavubuka abaali basula ku kkanisa yangulirako ebyokulya ne ndowooza nti waakisa.

Nga wayise emyezi esatu, yahhamba nti yafunye ekirooto nga Mukama amugamba nti alina kuwasa nze.

Olwokuba nakula mmanyi nti Abalokole boogera mazima nakkiriza. Ekiro ekimu yampita kyokka nagenda okulaba ng’apanga obutebe emabega w’ekkanisa nga tewali asobola kutulaba n’ahhamba nti, sitya buli ky’akola kiri mu mwoyo omutukuvu.

Yankozesa enfunda eziwera era waayita emyezi ebiri ne nfuna olubuto.

Olwamugamba yandanga nti takirinaako buzibu n’ansuubiza okumpangisiza enju. Nakitegeera luvannyuma nti yali annimba era n’adduka mu kkanisa.

Amagezi ganneesiba nga n’abantu abamu bampa amagezi okuggyamu olubuto naye ne hhaana. Embeera teyali nnyangu kubanga n’ekyokulya okukifuna tekyali kyangu.

Katonda yannyamba ne nzaala omwana mulenzi kati alina omwaka gumu n’emyezi ebiri.

Muganda wange yaddamu n’afuna ssente ezipangisa e Bwaise n’anzikiriza okuddamu okubeera naye n’omwana.

Sirina waaluganda lwa musajja yenna gwe mmanyi era n’obuyambi sirina.

Nsaba abawala abakyali mu ssomero mugume wadde mulinamu okunyigirizibwa. Ebirungi biri mu kusoma temulimbibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...