TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omukazi alina obwoya ku mubiri muka mu kaboozi

Omukazi alina obwoya ku mubiri muka mu kaboozi

By Musasi wa Bukedde

Added 11th November 2019

Abakazi abalina obwoya mu mubiri baba baka mu kaboozieara kye kimu ku bibaagaza abasajja kuba baba balina ebbugumu lingi mu mibiri.

Hairlyblackwoman 703x422

Omukazi alina obwoya mu kifuba.

Ekimu ku kyagaza abasajja abakazi abalina emibiri  egiriko obwoya kwe kuba nti balina ebbugumu lingi mu mibiri. 
 
Abakazi bano ebiseera ebisinga, tebeetaaga kutegeka kumala bbanga ddene nga tebannakwata muliro. Kubanga obwoya buno ku mibiri gyabwe bubawa enkizo y'okuba n'ebbugumu okukamala. 
 
Bino bye bimu ku byavumbuddwa bannasaayansi ne babifulumya ku mukutu oguyitibwa Why You Need To Have Sex With A Hairy Person. 
 
Wabula baazudde era nti emibiri gy'abakazi bano girwawo okuwulira ebizigo. Ekikebe ky'olowooza nti yalibadde akyesigira omwezi mulamba, ono ye ayinza okukyesiigira mu wiiki bbiri zokka, kubanga eddiba ly'emibiri gyabwe giba migumu.
 
Kino nno kye kibawa n'enkizo okuba nga bwe batandika akaboozi, babandaalirayo ddala kubanga okutuuyana kwonna obwoya bwe balina ku mibiri gyabwe kubufulumya bulungi. 
Ggwe ate obwoya we bubeerera obungi ku bitundu ebirabibwa amangu, naye ate eri ebikkibwa! 
 
Jjukira nti ate abantu bwe batyo, bwe bagezaako okusaawa emmanga eri, obuddo bubanga obusaggule; bumera ne busakaatira okukamala. Kino kiwa empombo zaabwe okuba nga tezisogonyoka mangu ne bwaba ng’amazeemu akaboozi.
 
Ate era batera okuba n'obwongo obwogi. Kino kibanguyiza okugattanga amangu emboozi n'abasajja ababa baakabakwana. Olwokuba bo baba n'obwongo nga bubeesera, kibanguyira okumanya ekiti ky'emboozi abasajja baabwe ze baagala okunyumyako. 
 
Abakazi bano, embeera yaabwe eno tebagikweka naddala olw'okuba nti obwoya bubabugaana ng’entamu bwe bugaana omuliro. 
 
Ate n'abasajja ababaganza baagala nnyo okubalaga mu bantu kubanga baba bakutte ku bakazi abalina eky’enjawulo ku bakazi abalala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga

Hat13 220x290

Omuliro guzizza abasuubuzi emabega...

Omuliro guzizza abasuubuzi emabega

Tum1 220x290

Ab’e Lwengo basattira lwa bubbi...

Ab’e Lwengo basattira lwa bubbi bw’ebisolo n’emmere

Kab1 220x290

Aboolugave baakununula obutaka...

Aboolugave baakununula obutaka bwabwe