TOP

Omukazi yanfera omukwano

By Musasi wa Bukedde

Added 12th November 2019

Nze Abdurrahman Musingunzi 25, mbeera Kalerwe. Twasisinkana n’omukazi mu ttendekero erimu eryobusomesa e Ibanda mu Ankole gye twali tusomera obusomesa era ne tusiimagana wadde nga twali tukyasoma. Omukazi ono nnamwesiga kuba yali yeeyisa bulungi ekyampaliriza okumwemalirako anti nga n’ebintu by’omukwano abitegeera. Wabula gye nakoma okumwagala naye gye yakoma okunfera omukwano.

Kavuma1jpgweb 703x422

Kavuma

OMUKAZI yanzibako ebiwandiiko byange byonna omuli n’ebyobuyigirize nandeka nga sirina we ntandikira.

Nze Abdurrahman Musingunzi 25, mbeera Kalerwe. Twasisinkana n’omukazi mu ttendekero erimu eryobusomesa e Ibanda mu Ankole gye twali tusomera obusomesa era ne tusiimagana wadde nga twali tukyasoma. 

Omukazi ono nnamwesiga kuba yali yeeyisa bulungi ekyampaliriza okumwemalirako anti nga n’ebintu by’omukwano abitegeera. 

Bwe twamaliriza emisomo gyaffe, twatandika omukwano gwaffe nga tetulina atukuba ku mukono n’atuuka n’okunyanjulira bazadde be ekintu ekyayongera okutugatta.

Lumu yankyalira awaka n’atandika okukebera buli kimu ekyali ku ssimu yange era mwe yagwiira ku bubaka obutaamusanyusa obwali bunsindikiddwa wamma n’atabuka. 

Ono mu kunyiiga ennyo, yakwata ebiwandiiko byange byonna omwali paasipooti n’ebbaluwa z’okusoma n’agenda nabyo era yandeka sirina na wentandikira.

Oluvannyuma yatandika okunkubira essimu nga anneewaanirako nga bwe yankomya.

Nagenda mu behhanda ze basobole okunnyamba boogereko naye wabula nasanga yavaayo era nga bagamba nti tebamanyi gy’ali.

 N’okutuusa kati siddangamu kumulabako. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191213at212901copy 220x290

Balaze waaka ku mpaka z'emisono...

Balaze waaka ku mukolo gw'okwolesa emisono ogwategekeddwa Abraynz ku Serena Hotel mu Kampala

Steelandtubebyjmutebi2 220x290

'Abakozi mukomye okwemulugunya'...

FAAZA Raymond Kalanzi ow’e kiggo ky’e Kiwamirembe alabudde abakozi abasiiba ku mirimu yonna gye bali nga beemulugunya...

Fanda1 220x290

Eyasuulawo mukyala we emyaka 25...

SSEMAKA eyasuulawo mukyala we ng’afunye omulala akomyewo oluvannyuma lw’emyaka 25 n’amukuba empeta.

Bba 220x290

Kkamera ziraze eyabbye emmotoka...

KKAMERA za poliisi zikutte omusajja omulala ng’abba emmotoka eyabadde esimbiddwa okumpi n’eddwaaliro ly’e Mulago....

Tamalemirundi 220x290

Tamale Mirundi agobye abamulambula...

Mikwano gya Tamale Mirundi betwayogeddeko nabo baategeezezza nti obulwadde Tamale bwamwetamizza abantu era mu bamu...