TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omulwadde wa siriimu asobola okuzaala?

Omulwadde wa siriimu asobola okuzaala?

By Musasi wa Bukedde

Added 16th November 2019

NDI mukyala ayagala waakiri okuzaalayo omwana omu kubanga nnina siriimu. Naye ssenga, kandida annuma naye neebuuza nti kandida taaleete obuzibu mu kuzaala?

Wuga 703x422

Kandida tagaana mukyala kuzaala oba taleeta bugumba mu bakyala. Kandida si bulwadde bwa kikaba ng’abasinga bwe balowooza kuba omufuna ssinga wabaawo enkyukakyuka mu mubiri.

Kati balwadde ba siriimu bafuna kandida kubanga ekiziyiza ku ndwadde balina kitono kati olwo akawuka akali mu kika kya ‘fungus’ nga kasangibwa mu bukyala keeyongera okukula ne kabeera kangi olwo omukyala n’afuna kandida.

Kandida ono asigala mu bukyala tayambuka mu nnabaana. N’ekirala mpozzi ekisobola okugaana okuzaala ke kawuka ka siriimu kennyini. Oluusi kalina bwe kataataaganya embeera z’okuzaala mu nnabaana.

Naye ng’omukyala yenna alina akawuka asobola okuzaala. Ekirala olina okulaba ng’omwana azaalibwa nga talina kawuka nga okozesa PMCTC. Mu malwaliro gonna enkola eno bagimanyi era bagikozesa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191206at004506 220x290

Omunigeria Wizkid afuukudde abadigize...

Abantu beeyiye ku Airstrip e Kololo mu kivvulu ky'Omunigeria Wizkid, mu kivvulu ekyatuumiddwa #DirtyDecember Ba...

Nicho 220x290

Amagye gasazeeko ffaamu ya taata...

AMAGYE ne poliisi basazeeko ffaamu ya taata wa Bobi Wine omugenzi Wellington Jackson Ssentamu e Gomba.

Sevo 220x290

Museveni ayongedde ggiya mu kulwanyisa...

PULEZIDENTI MUSEVENI ayongedde ggiya mu kulwanyisa abali b’enguzi era n’awa amagezi abawa abantu emirimu mu bitongole...

Ppp2 220x290

Abantu 20 be bafa obulwadde bw'akafuba...

Bebe Cool akoowoodde Bannayuganda okumwegattako mu kulwanyisa obulwadde bw’akafuba emu ku ndwadde zi nnamutta mu...

Ucumussanyu9214 220x290

UCU Lady Canons ewangudde n'edda...

JKL Dolphins yeetaaga kuwangula nzannya bbiri ku UCU Lady Canons okusitukira mu kikopo kya sizoni eno.