Nze Sophie Nakibirango 25, mbeera Najjanankumbi. Nnatuuka nga nfuna omwami eyali omulungi mu ndabika nga kizibu okukwana omukazi n’amugaana. Kale bwe yansuula akagambo nti nkwagala, nasooka ne nsirika naye naddamu nti nzikirizza mu mutima.
Omanyi bagamba nti omulungi tabulako kamogo nga njagala nsooke mmanye akamogo ono kaalina.
Wabula namugamba nti okumuwa omutima gwange, kansooke mwetegereze manye obuzibu bw’alina hhende okumuwa omukwano gwange nga mutegeera.
Kino kyantwalira emyaka ebiri nga mwetegereza wabula mu bbanga eryo lyonna nga talina kampa ke nnyinza okugamba nti ke kano.
Ono gye yakoma obulungi gye yakoma obukodo. Wabula nnakoma kw’egyo seeyongerayo mu bufumbo nga bwe yali ansaba.
Bwe yayagalanga okundaba ng’ankubira ne hhenda okumusisinkana ne tulya n’okunywa olwaggwa ng’ansiibula n’akwata erirye nange ne nkwata eryandeese.
Okumanya omusajja ono yali mukodo, nga tayinza na kumpa tulansipooti gwe mba nnakozesezza oba anzizaayo.
Lumu namugezesa ne mugamba waliwo olugoye lwe njagala okugula lwa 50,000/- nga njagala annyongereze ku ze nnina ndugule.
Bwe nayogera ku ky’okumpa ssente, ye yali entandikwa y’okwawukana kwaffe anti yanziramu kimu nti ajja kulungulira era teyaddamu kukwata ssimu zange.
Nange era kye nnakola kwali kusangulamu nnamba ya ssimu ye ne mmuta era ne nkimanya ni abasajja abakodo tebaagalika.