TOP

Emyezi ebiri sigenda mu nsonga

By Musasi wa Bukedde

Added 18th November 2019

Ndi muwala wa myaka 21. Nneegatta oluvannyuma ne ng'enda mu kalwaliro ne ngula empeke okwetangira okufuna olubuto naye kati mmaze emyezi ebiri nga sigenda mu nsonga ate nkyasoma. Ntya okwekebeza okuzuula oba ndi lubuto.

Ssengalogonew 703x422

Ssenga wa Bukedde

Ssenga nnyinza okuba nga ndi lubuto? 

Ndi muwala wa myaka 21. Nneegatta oluvannyuma ne hhenda mu kalwaliro ne ngula empeke okwetangira okufuna olubuto naye kati mmaze emyezi ebiri nga sigenda mu nsonga ate nkyasoma. Ntya okwekebeza okuzuula oba ndi lubuto. N’ekirala ssenga bwe nneegatta nfuna obulumi bungi ddala. 

Mwana wange okusookera ddala olina okugenda mu ddwaaliro bakukebere okumanya oba oli lubuto.

Simanyi ddagala ki lye baakuwa okutangira olubuto luno era kizibu okumanya oba wafuna olubuto oba nedda. N’ekirala okweraliikirira nakyo kireeta embeera eno n’otagenda mu nsonga naye nga toli lubuto. Naye baana bange simanyi lwaki mwegatta ate nga mutya embuto. 

Ate okyasoma lwaki togumiikiriza n’omala okusoma. Oba ng’otya olubuto teweegatta oba si kyekyo olina okukozesa enkola ya kizaalaggumba weewale okufuna olubuto era  oyinza n’okukozesa kondomu.

Ate bw’oba olubuto oba oyagala oba toyagala lulina okukula era oba olina omanyika nti olina olubuto era bw’osirika era tekikuyamba. Ate ennaku zino ekirungi osobola okuzaala n’oddayo n’osoma.

Sigaanyi kikola bubi abazadde ssinga oba osoma n’ofuna olubuto naye eyo ebeera ensobi tolina kyakukola.   

Ekibuuzo ekyokubiri okufuna obulumi nga weegatta kirabika otya nnyo okufuna olubuto kale obukyala tebusobola kweta olw’okutya era tosobola na kufuna bwagazi. Mu mbera eyo olina kufuna bulumi.

N’ekirala e Naguru Teenage Centre bagenda kukebera ku bwereere ate bagenda n’okuyamba okukubudaabuda ssinga bakusanga ng’oli lubuto. Genda e Bugolobi we wali Naguru Teenage Centre.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Know 220x290

Baze yanjiira asidi lwa kumugaana...

OBUTABANGUKO mu maka kimu ku bizibu ebiyuuya obufumbo mu ggwanga. Abakazi be basinga okukosembwa embeera eno era...

Laga1 220x290

Bwe nnafuna olubuto lw'abalongo...

NZE Ritah Byeganje, 25, ndi mutuuze mu Katoogo zooni mu muluka gwa Bwaise III e Kawempe. Nasinsinkana ne muganzi...

Yamba 220x290

Baze bwe yayingirira eby'okusamize...

EBIKOLWA by’okusamira n’okukozesa ebyawongo kimu ku bivuddeko obufumbo bw’ensangi zino okutabanguka.

Abakungubanrmmuofiisiyacaojamesnkataabaakulembeddwardcfredbamwineasookakuddyowebuse 220x290

RDC w’e Mukono akulembeddemu kaweefube...

Abakulembeze e Mukono bavuddeyo ku byobugagga bya disitulikiti y'e Mukono ebigambibwa okutundibwa

Abazaddenabongabavuganyamumpakazokuddukanolondaakapapulaobweddaobulimuebiraboebyenjawulowebuse 220x290

Abazadde bawangulidde abaana baabwe...

Omukulu w'essomero akakoze bw'addizza abazadde ebirabo n'abaleka nga bamutenda omwoyo gw'okuddiza