TOP

Emyezi ebiri sigenda mu nsonga

By Musasi wa Bukedde

Added 19th November 2019

Nneegatta oluvannyuma ne ngenda mu kalwaliro ne ngula empeke okwetangira okufuna olubuto naye kati mmaze emyezi ebiri nga sigenda mu nsonga ate nkyasoma.

Ssengalogo 703x422

NDI muwala wa myaka 21. Nneegatta oluvannyuma ne ngenda mu kalwaliro ne ngula empeke okwetangira okufuna olubuto naye kati mmaze emyezi ebiri nga sigenda mu nsonga ate nkyasoma. Ntya okwekebeza okuzuula oba ndi lubuto.
 
N’ekirala ssenga bwe nneegatta nfuna obulumi bungi ddala.
 
Mwana wange okusookera ddala olina okugenda mu ddwaaliro bakukebere okumanya oba oli lubuto.
 
Simanyi ddagala ki lye baakuwa okutangira olubuto luno era kizibu okumanya oba wafuna olubuto oba nedda. N’ekirala okweraliikirira nakyo kireeta embeera eno
n’otagenda mu nsonga naye nga toli lubuto.
 
Naye baana bange simanyi lwaki mwegatta ate nga mutya embuto. Ate okyasoma lwaki togumiikiriza n’omala okusoma. Oba ng’otya olubuto teweegatta oba si
kyekyo olina okukozesa enkola ya kizaalaggumba weewale okufuna olubuto era oyinza n’okukozesa kondomu.
 
Ate bw’oba olubuto oba oyagala oba toyagala lulina okukula era oba olina omanyika
nti olina olubuto era bw’osirika era tekikuyamba.
 
Ate ennaku zino ekirungi osobola okuzaala n’oddayo n’osoma. Sigaanyi kikola bubi abazadde ssinga oba osoma n’ofuna olubuto naye eyo ebeera ensobi
tolina kyakukola.
 
Ekibuuzo ekyokubiri okufuna obulumi nga weegatta kirabika otya nnyo okufuna olubuto kale obukyala tebusobola kweta olw’okutya era tosobola na kufuna bwagazi.
 
Mu mbera eyo olina kufuna bulumi. N’ekirala e Naguru Teenage Centre bagenda kukebera ku bwereere ate bagenda n’okuyamba okukubudaabuda ssinga bakusanga ng’oli lubuto. Genda e Bugolobi we wali Naguru Teenage Centre.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191206at004506 220x290

Omunigeria Wizkid afuukudde abadigize...

Abantu beeyiye ku Airstrip e Kololo mu kivvulu ky'Omunigeria Wizkid, mu kivvulu ekyatuumiddwa #DirtyDecember Ba...

Nicho 220x290

Amagye gasazeeko ffaamu ya taata...

AMAGYE ne poliisi basazeeko ffaamu ya taata wa Bobi Wine omugenzi Wellington Jackson Ssentamu e Gomba.

Sevo 220x290

Museveni ayongedde ggiya mu kulwanyisa...

PULEZIDENTI MUSEVENI ayongedde ggiya mu kulwanyisa abali b’enguzi era n’awa amagezi abawa abantu emirimu mu bitongole...

Ppp2 220x290

Abantu 20 be bafa obulwadde bw'akafuba...

Bebe Cool akoowoodde Bannayuganda okumwegattako mu kulwanyisa obulwadde bw’akafuba emu ku ndwadde zi nnamutta mu...

Ucumussanyu9214 220x290

UCU Lady Canons ewangudde n'edda...

JKL Dolphins yeetaaga kuwangula nzannya bbiri ku UCU Lady Canons okusitukira mu kikopo kya sizoni eno.