TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Mukazi wange alabika yayenda n’azaala n’omwana

Mukazi wange alabika yayenda n’azaala n’omwana

By Musasi wa Bukedde

Added 19th November 2019

Nnina abakyala babiri, mukyala muto ali mu kyalo naye kati omukyala oyo alabika ayenda era yazaala omwana mulenzi.

Ssengalogo 703x422

Nnina abakyala babiri, mukyala muto ali mu kyalo naye kati omukyala oyo alabika ayenda era yazaala omwana mulenzi.
 
Mbadde mpeereza obuyambi era ng’oluvannyuma lw’omwezi ngendayo. Kati ssenga nnoonya omukyala omulala gwe nsobola okuzza mu kifo ekyo kubanga nina ebintu bye kolerayo. Nkoze ntya ssenga?
 
Mwana wange okusookera ddala ogambye omukyala ono mwenzi, naye okakasa nti mwenzi oba lugambo? Sitegedde omwana gw’ogamba nti mulenzi si wuwo.
 
Oba ddala olowooza nti mwenzi sooka omukebeze omanye ekituufu.
 
N’ekirala abasajja bangi bateeka abakyala mu byalo naye nga tebabafaako. Abakyala abasinga eb’ennaku zino tebagumira mbeera eyo. Kale bw’oba tomufaako wesanga
ng’afunye abasajja abalala. Naye ng’omukyala yenna olina okubeera n’obuvunaanyizibwa ku ye naddala bw’osalawo nti mukyalawo.
 
Muntegeere bulungi sigamba nti ssinga omusajja tabeera na buvunaanyizibwa ku mukyala wo alina okwenda wabula abamu kibaleteera okukemebwa n’ayenda. Kati mwana wange nga tonnaba kulowooza kufuna mukyala mulala, ndowooza sooka weetegereze oba ddala omwana ono si wuwo.
 
N’ekirala singa ofuna omukyala omulala kiki ky’ogenda okukyusaamu okulaba
ng’omukyala gwoteese mu kyalo omufaako kubanga era ogenda kudda mu mbeera eyo.
 
Omukyala okubeera mu kyalo n’oweereza obuyambi tekimala. Okugendayo
nga wayise omwezi mulamba era nakyo tekimala.
 
Abakyala b’ennaku zino si be bakyala abedda. Olina okulaba ng’omukyala omulabirira ng’ oyo gw’obeera naye. Kati sooka weebuuze ddala osobola okulabirira omukyala ng’ali mu kyalo.
 
Baana bange mulekere awo abakyala okubafuula abakozi. Omukyala asigala mukyala. Olina obuvunaayizibwa okumulabirira. Nkubira ku ssimu twogere ku nsonga eno.
0772458823.
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191206at004506 220x290

Omunigeria Wizkid afuukudde abadigize...

Abantu beeyiye ku Airstrip e Kololo mu kivvulu ky'Omunigeria Wizkid, mu kivvulu ekyatuumiddwa #DirtyDecember Ba...

Nicho 220x290

Amagye gasazeeko ffaamu ya taata...

AMAGYE ne poliisi basazeeko ffaamu ya taata wa Bobi Wine omugenzi Wellington Jackson Ssentamu e Gomba.

Sevo 220x290

Museveni ayongedde ggiya mu kulwanyisa...

PULEZIDENTI MUSEVENI ayongedde ggiya mu kulwanyisa abali b’enguzi era n’awa amagezi abawa abantu emirimu mu bitongole...

Ppp2 220x290

Abantu 20 be bafa obulwadde bw'akafuba...

Bebe Cool akoowoodde Bannayuganda okumwegattako mu kulwanyisa obulwadde bw’akafuba emu ku ndwadde zi nnamutta mu...

Ucumussanyu9214 220x290

UCU Lady Canons ewangudde n'edda...

JKL Dolphins yeetaaga kuwangula nzannya bbiri ku UCU Lady Canons okusitukira mu kikopo kya sizoni eno.