TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ssenga nsobola okuloga omulenzi n’anjagala?

Ssenga nsobola okuloga omulenzi n’anjagala?

By Musasi wa Bukedde

Added 19th November 2019

Mpulira bagamba osobola okuloga omusajja n’akwagala. Ggwe olina ku ddagala ssenga.

Ssengalogo 703x422

Nnina omulenzi gwe njagala, naye omulenzi oyo alabika tanjagala naye nze mwagala nnyo. Kati ssenga nkoze ntya? Mpulira bagamba osobola okuloga omusajja n’akwagala. Ggwe olina ku ddagala ssenga.
 
Sirina ddagala. Nze ndowooza nti omuntu yenna okwagala y’alina okusalawo. N’ekirala mwana wange omuntu singa asalawo okukukyawa era yeesalirawo yekka.
 
Abantu bangi balowooza nti omuntu tasobola kukukyawa era bw’akukyawa aba akoze nsobi. Kati ono oba yakukyawa mwesonyiwe.
 
Ate leka kumala budde na ssente mbu ologa.
 
N’ekirala baana bange, okuloga kikolwa kibi nnyo.
 
N’ekirala tosobola kukyusa mutima gwe akwagale nga yakukyawa. Kale tomala biseera, sigaanyi okyamwagala naye takwagala. Kati okumala obudde bwo ng’oyagala akwagale
si kirungi naakamu.
 
Ensi bwetyo bw’etambula.
 
Nekirala bantu bangi tebakimanyi nti ebirungi biri mu maaso. Oyinza okufi ira kw’ono
ate nosubwa omulala. Ate manya nti okusobola okufuna omulala ono olina muta mu
mutima osobole okulaba abalala. Kimanye nti Omukwano tebagugula era tebaguloga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191206at004506 220x290

Omunigeria Wizkid afuukudde abadigize...

Abantu beeyiye ku Airstrip e Kololo mu kivvulu ky'Omunigeria Wizkid, mu kivvulu ekyatuumiddwa #DirtyDecember Ba...

Nicho 220x290

Amagye gasazeeko ffaamu ya taata...

AMAGYE ne poliisi basazeeko ffaamu ya taata wa Bobi Wine omugenzi Wellington Jackson Ssentamu e Gomba.

Sevo 220x290

Museveni ayongedde ggiya mu kulwanyisa...

PULEZIDENTI MUSEVENI ayongedde ggiya mu kulwanyisa abali b’enguzi era n’awa amagezi abawa abantu emirimu mu bitongole...

Ppp2 220x290

Abantu 20 be bafa obulwadde bw'akafuba...

Bebe Cool akoowoodde Bannayuganda okumwegattako mu kulwanyisa obulwadde bw’akafuba emu ku ndwadde zi nnamutta mu...

Ucumussanyu9214 220x290

UCU Lady Canons ewangudde n'edda...

JKL Dolphins yeetaaga kuwangula nzannya bbiri ku UCU Lady Canons okusitukira mu kikopo kya sizoni eno.