TOP

Mukwano gwange yankwata mu liiso

By Musasi wa Bukedde

Added 21st November 2019

Nafuna omuwala gwe nnayagala okuzaama era nga mmulinamu n’essuubi ly’okumufuula mukyala wange naye byonna byafa ttogge.

Kutula 703x422

NZE Steven Nsamba, nnina emyaka 19 nga mbeera Makindye mu Kampala.

Nafuna omuwala gwe nnayagala okuzaama era nga mmulinamu n’essuubi ly’okumufuula mukyala wange naye byonna byafa ttogge.

Lwe nnasooka okulaba omuwala ono, namusiimirawo ate naye kirabika bwe yali era waayita mbale ne tukwatagana.

Oluvannyuma yatandika okujja gye nnali mbeera mu kazigo. Akazigo kano twali tukapangisa ne mukwano gwange era nga tubeera ffenna.

Ekyasinga okunnuma ye mukwano gwange ono gwe nnali mbeera naye ate okutandika okumusonseka ebigambo ebyamutengula okukkakkana nga batandise okwagalana.

Ekiseera we twabeerera ne mukwano gwange ono, yasala amagezi okulaba ng’afuna ennamba y’omuwala ono okutuusa bwe yagifuna ne batandika okwogeraganya nga nze simanyi.

Lumu nga ndi waka ne mukwano gwange omuwala n’ajja nze nga ndowooza nti azze kulaba nze wabula kyambuukko nga yali azze kulaba mukwano gwange.

Oluvannyuma nga mmaze okukizuula nti omuwala yali azze kulaba mukwano gwange, nze nnasalawo okutambulamu ne nvaawo awaka era nnakomawo nga obudde buzibidde ddala wabula bwennagezaako okunenya ku mukwano gwange ono nga talina kirambulukufu ky’anyinyonnyola era nange ne mmwesonyiwa nga mmaze okutegeera nti andiddemu olukwe.

Enkeera era omuwala ono yakomawo ne mbasanga mu nnyumba era okuva olwo ne nkakasiza ddala nti emikwano egimu giba mizibu.

Natandika mpola okumwesalako nga n’essimu sikyamukubira awo n’amanya nti mukyaaye.

Nga wayise ebbanga, yatandika okunkubira essimu ng’anneetondera wabula ne hhaana okumuddira ne ntandika kunywerera ku mirimu gyange.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kid2 220x290

Ekiri mu Toto Festival e Namboole...

Ekiri mu Toto Festival e Namboole

Man2 220x290

Norman Musinga ayogedde ku by'okwawukana...

Norman Musinga ayogedde ku by'okwawukana ne mukyala we-Oyo omukazi anneesibako

Nom8 220x290

Norman Musinga mukyala we amuwadde...

Norman Musinga mukyala we amuwadde obukwakkulizo obukambwe nga baawukana

Nom3 220x290

Akulira ebidduka mu Kampala atabuse...

Akulira ebidduka mu Kampala atabuse nemukazi we

Awar 220x290

Owa Bukedde awangudde engule

Bannamawulire n’abayimbi bawangudde engule mu mpaka za Rising Star Awards