TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Eyajja nga omupangisa yannyonoonera obulamu

Eyajja nga omupangisa yannyonoonera obulamu

By Musasi wa Bukedde

Added 25th November 2019

OBULAMU bwange bwali bulungi okutuusa lwe nafuna olubuto lw’omusajja gwe nnali simanyi wadde gy’ava.

Kebera 703x422

Nga bwe bagamba nti omukwano guziba amaaso, nange gwanziba amaaso ne ntuuka n’okuzaala mu musajja gwe nnali simanyi wadde ebimukwatako. Nze Caroline Ajambo, mbeera Namuwongo.

Omwami ono yali mupangisa ku nnyumba kwe nnali nsula era we yatandikira okunsonseka obugambo bw’omukwano obwantengula omutima okukkakkana nga twagalanye.

Nga wayise ebbanga, omwami ono yatandika okunkanda omwana ng’ataddewo n’obukkwakkulizo nti ssinga simuzaalira, kiba kiraga nti simwagala.

Nasooka ne ntya kuba nnali sinaayagala kuzaala, naye olw’okuba nnali saagala kumulumya, nakkiriza era waayita ebbanga ttono ne nfuna olubuto.

Kino kyansanyusa nnyo kubanga nnali mmanyi nti omwami wange ky’ayagala ekyatuuka n’okundowoozesa nti osanga twali tugenda kutandika kubeera ffembi.

Bwe nnamugamba amawulire gano, yatandika mpola okukyuka nga ne bwemba nnina kye mmugamba nga tammuka.

Natuusa ekiseera nga sikyamulaba nga n’essimu ye tekyabeerako. Nalowooza nti osanga yali afunye obuzibu kubanga ennyumba ye yaliko kkufulu.

Nagenda ewa landiroodi ne mugamba nti omwami w’omwo taba nga yafuna obuzibu nga sikyamulaba!

Landiroodi olwamugamba bino kwe kumenya kkufulu, tugenda okutuuka mu nju nga nkalu naye nga yalekamu entimbe. Nasooka ne ntuula wansi nga mpunze kubanga nnali ndaba ng’ensi ekomye ate nga sirina muntu we yenna ggwe mmanyi.

Obuzibu bwe nafuna omwana gwe nazaala alina ekizibu ku bwongo era abasawo bagamba nti alina kubeera ku ddagala kyokka talina kyasobola kukola ku mwaka ogumu ate nga n’eddagala lya bbeeyi.

Omwami ono siddangamu kumulaba era simanyi na waakutandikira. Sikyakola kubanga omwana sirina gwe mulekera ate nga ne mu nnyumba bangobamu. Bannange, nsaba kumpa ku magezi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip2 220x290

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu...

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu ggiya

Set1 220x290

Museveni awabudde ku nteekateeka...

Museveni awabudde ku nteekateeka y’ettaka eneegaggawaza Bannayuganda

Tip2 220x290

Abbye abaana babiri n’abatwalira...

Abbye abaana babiri n’abatwalira muganzi we

Top2 220x290

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso...

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso e South Africa annyonnyodde

Nem1 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okkozesaamu empirivuma okulongoosa omutima n'okugumya ebinywa...