TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Mukyala weebale kunjagala nga bwendi

Mukyala weebale kunjagala nga bwendi

By Musasi wa Bukedde

Added 1st December 2019

SIRABANGA muntu kwegomba muntu sso nga naye yamwegomba dda. Ekyo kye kyantuukako era nange ne ntenda omukisa gwe nnava nagwo awaka ku lunaku olwo. Nze Charles Mutagubya, mbeera Masajja.

Genda 703x422

Omukyala ono twali tubeera ku kyalo kye kimu era nga tutera okweraba wabula bwe nnamutuukirira yalabika nga bye nnamugamba tebyamwewuunyisa ekyandaga nti kirabika naye yalinamu ekirowoozo nga yanneegomba dda.

Engeri gye ssaalina ssente ate ng’omukyala anyirira okukamala, nasooka ne mutya nga ndowooza nti ajja kunsaba ssente ekintu ekitaali kituufu.

Wabula nga wayise ebbanga, nnasiba omutima ne mutuukirira ate natankaluubiriza.

Kino kyampa essanyu ate n’andaga nti kye nnali musuubiramu eky’okwagala ssente si byaliko.

Oluvannyuma lw’okukizuula nti omukyala ono eby’okwejalabya ssi by’aliko, nasalawo okumulemerako olwo nga mulabyemu ebiseera byange eby’omu maaso engeri gye kyali nti yali akyasoma, namugumiikiriza era bwe yamaliriza kwe kumuteeka ewange era kati yafumba.

Engeri gye kiri nti mukyala wange ono simulabangamu 1 2 3 4 5 6 7 8 9 muze gwonna, kino kimpa amaanyi okwongera okumwagala era musuubiza nti sirimukyawa.

Nsaba Katonda atukuume tufune n’ezaadde eddungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191206at004506 220x290

Omunigeria Wizkid afuukudde abadigize...

Abantu beeyiye ku Airstrip e Kololo mu kivvulu ky'Omunigeria Wizkid, mu kivvulu ekyatuumiddwa #DirtyDecember Ba...

Nicho 220x290

Amagye gasazeeko ffaamu ya taata...

AMAGYE ne poliisi basazeeko ffaamu ya taata wa Bobi Wine omugenzi Wellington Jackson Ssentamu e Gomba.

Sevo 220x290

Museveni ayongedde ggiya mu kulwanyisa...

PULEZIDENTI MUSEVENI ayongedde ggiya mu kulwanyisa abali b’enguzi era n’awa amagezi abawa abantu emirimu mu bitongole...

Ppp2 220x290

Abantu 20 be bafa obulwadde bw'akafuba...

Bebe Cool akoowoodde Bannayuganda okumwegattako mu kulwanyisa obulwadde bw’akafuba emu ku ndwadde zi nnamutta mu...

Ucumussanyu9214 220x290

UCU Lady Canons ewangudde n'edda...

JKL Dolphins yeetaaga kuwangula nzannya bbiri ku UCU Lady Canons okusitukira mu kikopo kya sizoni eno.