TOP

Ntya okuddamu okuzaala

By Musasi wa Bukedde

Added 1st December 2019

NNINA abaana basatu naye nzaala bubi era buli lwe nzaala nkomayo. Abasawo bahhaana okuddamu okuzaala. Naye omwami wange ayagala tuzaale abaana mukaaga. Neeyongere okuzaala oba omwami wange mugambe? Ayinza okundekawo n’afuna omukyala omulala singa mugamba nti sigenda kuddamu kuzaala.

Kola 703x422

ABASAJJA bangi tebakitegeera nti omukyala alina okukoma okuzaala. Abasawo we batuukira okukugaana okuddamu okuzaala, embeera baba bagitegeera bulungi era baba baagala osigale ng’oli mulamu.

Oyinza okuzaala omwana naawona ate gwe n’ofa. Kati omwami wo tamanyi lwaki olina okukoma ku baana abasatu.

Wano omusawo alina okukuyamba n’amunnyonnyola wadde ng’era ayinza obutakitegeera.

Omusajja okuzaala mu mukazi omulala yeesalirawo yekka era ne bw’ozaala abaana mukaaga nga bw’ayagala wabula n’asalawo okuzaala mu mukazi omulala era akikola.

Oluusi ne bw’okola ebirungi ebyenkanawa ng’asazeewo era akola ekyo ky’alaba nga kimusanyusa wadde ggwe tekikusanyusa. Kati gwe olina okusalawo ku bulamu bwo kubanga kye kikulu.

Olina okukimanya nti bw’oba ozaala ggwe obeera mu buzibu si mwami wo. Gendera ku mateeka g’omusawo osobole okukuza abaana bo abasatu.

Oba omusajja ono akwagala, agenda kuwagira enkola ya kizaalaggumba kubanga aba tayagala kukufiirwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Troubled 220x290

Oulanya agugumbudde abazadde abataweerera...

Omumyuka wa sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanya agugumbudde abazadde abeesuuliddeyo ogwa nnaggamba okuweerera abaana...

Young 220x290

Abalokole batadde Gavt. ku nninga...

ABASUMBA b’abalokole batadde gavumenti ku nninga okubawa layisinsi ezibakkiriza okugatta abagole wabweru w’ekkanisa....

Kolayo 220x290

Bayisizza bajeti ya bukadde 200...

ABASUUBUZI mu Kikuubo ne Nabugabo bakungubagidde maama w’omugagga Moses Kayongo nnannnyini Mt. Zion Hotel esangibwa...

Kola 220x290

Agambibwa okubba kasooli bamukubye...

ABASERIKALE ba LDU baliko omuvubuuka gwe bakutte lubona mu lusuku ly’omutuuze ng’abba kasooli ne bamukuba amasasi...

Okutulugunya abakyala kweyongede...

Joan Nakilanda nga ono Alina emyaka 21 yafumbirwa nga alina omyeka 17 era nazala omwana we asoka neba. Oluvanyuma...