TOP

Ennaku ennumye ne neetamwa

By Musasi wa Bukedde

Added 1st December 2019

OKUBONAABONA taata w’abaana kwantuusizzaako kuntamizza abasajja. Nze Frolence Nambuya 42, mbeera Kirwanire mu Matugga.

Kolayo 703x422

Twasisinkana ne baze mu 2003 ne mmwemalira nga ndaba nfunye omuntu bwe tunaakumagana, wabula akoze kimu kya kunkaabya.

Mu katale e Matugga nnalinamu omudaala nga ntunda buli kye nnabanga ndabye era nga ssente nzifuna, we nnafunira omusajja ono eyali makanika wa ppikippiki mu Matugga.

Yantegeeza nga bwe yali ansiimye mbeere mukyala we era n’ambuulira nga bwe yalina omukyala omulala.

Bwe namugamba nti saagala musajja alina mukazi, yahhumya nti kino tekiyinza kukendeeza mukwano gwawulira gyendi.

Mu 2007 nnazaala omwana mulenzi olwo omusajja ono natandika okunneewolako ssente ze nnali nkuhhaanyirizza ebbanga. Bwe nnamuwolanga 10,000/- nga azizza mangu naye bwe nnamuwanga ezisingawo nga tazizza.

Yali yampangisiza omuzigo, nga mukyala mukulu y’asula mu maka e Kawempe. Muggya wange teyanninaako buzibu nga n’abaana be bajja ewange.

Omusajja ono yagula poloti za mirundi esatu nga antegeeza nga bw’azingulidde ate oluvannyuma n’azinzigyako n’azitunda.

Mu 2008 nnamubuulira bwe nnalina 500,000/- ne musaba anyongereko ngule poloti.

Ssente yazimpa era twagenda naye okugisasula. Naye bwe twatuuka ku mutunzi, omusajja ono yayagala endagaano bagikole mu mannya ge so nga nze nnali njagala ebe mu mannya ga mwana waffe.

Omusajja yalemerako ng’agamba nti bwe batagiwandiika mu mannya ge tagenda kugigula.

Poloti twagigula emitwalo 90 ne tusasulako emitwala 80 ng’emitwalo 10 zaakusasulwa oluvannyuma.

Yankakasa nti endagaano yali yaakukyusibwa nga basasula ebbanja olwo edde mu mannya g’omwana.

Ekyewuunyisa, namuwa ssente kyokka endagaano n’agireka mu mannya ge n’agitwalira muggya wange ne bagitunda nga wayise emyezi mukaaga.

Omusajja ono yajjanga ku mulimu gye nnali nkolera n’akola effujjo okutuusa lwe bangoba.

Yajjanga we nnali mbeera n’akolerawo effujjo n’awangula n’olujji ne ku nnyumba ne batugoba ne nzira ewa kitange e Najjemba gye nava oluvannyuma ne hhenda ewa mukulu wange e Kkungu gye natandikira okusuubula ebijanjaalo.

Muno nafunamu ssente ne ngula poloti ne nzimbamu ennyumba. Oluvannyuma twaddihhana ne nfuna n’olubuto olulala.

Ono yagula ppikippiki n’antegeeza nga bw’agiguze okuyamba abaana bange era ne ntandika okukola nga boodabooda.

Wano omwana adda ku mukulu we yalwalira era nnali mu ddwaaliro ppikippiki n’agitunda era n’awangula n’oluggi mu nnyumba.

Nnamuwawaabira ku poliisi ku fayiro nnamba SD 18/27/06/11 nga muvunaana obutalabirira baana n’okwonoona ebyange ne bamuyita naye teyagendayo.

Ensonga nazongerayo mu kkooti e Matugga gye baamukozeseza endagaano y’okulabirira abaana ekintu kyataatuukiriza.

Kkooti yampa ebbaluwa emukwata ngitwale ku poliisi e Matugga kyokka bwe nnatuukayo bankwata nze ne banzigulako ogw’okwasa endabirwamu y’emmotoka kye simanyi. Ku poliisi namalayo ennaku mukaaga ne ntwalibwa mu kkooti.

Taata ye yanneeyimirira. Omusango oluvannnyuma kkooti yagugoba.

Omwana omukulu yali agaanyi okumuweerera okutuusa Nakacwa owa Taasa Amaka ku Bukedde TV lwe yankolera ku ntegeka ezimusomesa. Amuddirira yafa ne mu ddwaaliro baze teyalinnyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191206at004506 220x290

Omunigeria Wizkid afuukudde abadigize...

Abantu beeyiye ku Airstrip e Kololo mu kivvulu ky'Omunigeria Wizkid, mu kivvulu ekyatuumiddwa #DirtyDecember Ba...

Nicho 220x290

Amagye gasazeeko ffaamu ya taata...

AMAGYE ne poliisi basazeeko ffaamu ya taata wa Bobi Wine omugenzi Wellington Jackson Ssentamu e Gomba.

Sevo 220x290

Museveni ayongedde ggiya mu kulwanyisa...

PULEZIDENTI MUSEVENI ayongedde ggiya mu kulwanyisa abali b’enguzi era n’awa amagezi abawa abantu emirimu mu bitongole...

Ppp2 220x290

Abantu 20 be bafa obulwadde bw'akafuba...

Bebe Cool akoowoodde Bannayuganda okumwegattako mu kulwanyisa obulwadde bw’akafuba emu ku ndwadde zi nnamutta mu...

Ucumussanyu9214 220x290

UCU Lady Canons ewangudde n'edda...

JKL Dolphins yeetaaga kuwangula nzannya bbiri ku UCU Lady Canons okusitukira mu kikopo kya sizoni eno.