Omusajja ono mulinamu abaana babiri era tubadde twakamala emyaka etaano nga tweyagala.
Nnali mbeera Mbale ne bazadde bange era omusajja ono namusanga mu katale gye yali akola ogw’okutambuza empapula n’ankwana.
Namuwa ennamba y’essimu yange ne kubanga nange nnali mugudde anti ng’alabika bulungi.
Twatandika okwogeraganya era wano we yansuubiriza okundeeta e Kampala nfuuke mukyala we nange ne nzikkiriza.
Yantuusiza mu muzigo gye yali abeera e Namusaba. Wabula talina waalugnda gwe yandaga. Nagezaako okunoonyereza naye tewali gwe nnafuna.
Engeri omwami ono gye yali akolera ssafaali, saafuna na mukisa kumanya waakiri mikwano gye.
Twali tetuyombangako naye bwe nnazaala omwana owookubiri, bwe baamukebera ne bakizuula nti mulwadde wa aniya obuzibu we bwava.
Bwe namutegeeza amawulire gano, yasirika busirisi era enkeera n’agenda okukola nga bulijjo naye ku mulundi guno teyadda kati mwaka mulamba.
Ennyumba baali baatugoba mu ne nkwata ssente ze yali yatereka mu kibiina ne nzimba mu poloti omuzigo gumu ne tuyingira ezo ssente z’ennyumba ne nziwona naye kati ssente z’okulya n’ezeddagaala ly’omwana siziraba.
Nkola gwa kwoza ngoye ku kyalo naye ssente tezimmala. Nsaba omuzirakisa yenna ng’alina omulimu annyambe nsobole okulabirira omwana wange.
Nsaba ne taata w’abaana yonna gyoli okomewo kubanga tukulowoozaak era tukulindiridde awaka.