TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Nkole ntya okuviira omusajja omutamiivu?

Nkole ntya okuviira omusajja omutamiivu?

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd December 2019

TULI mu muzigo n’abaana baffe bataano. Naye omwami mpulira antamye, buli lwanywa omwenge n’alwana. Abaana nze mbalabirira mu buli kimu ne fiizi nze nzisasula. Baze akomawo atamidde n’atukuba n’abaana kale ne tuswala buli kiseera. Njagala kumuleka mpangise ennyumba endala kubanga nkooye ate baganda be bahhamba nti nnina okuguma. Ssenga hhumire ku ki?

Kola 703x422

ABAKUGAMBA nti olina okuguma baagala obakuumire omuntu waabwe kubanga tebasobola kubeera naye nga mutamiivu.

Okusookera ddala talina buvunaanyizibwa ku maka ge kati ayagala ggwe otwale obuvunaanyizibwa ate nga bw’owoza n’emisango egy’okulwana.

Oba ddala gwe asasula ennyumba n’okulabirira abaana, nze ndaba ng’atali mufumbo. kyokka n’agattako okukukuba.

Kati balamu bo oba baganda be, bakwagala osigale ng’omulabirira. Ensonga eno gitwale mu bantu be nga weemulugunya nti tokyasobola kubeera na musajja ono era obabuulire nga bw’omukooye kubanga bw’oba okyali naye ate nga takuyamba kitegeeza nti okyayagala okubeera naye.

Olina okwesalirawo bw’oba owulira nti omukyaye n’omuleka mu nnyumba n’ofuna endala. Babuulire nti ogenda kumuviira tokyamusobola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191205at234243 220x290

Abantu beeyiye ku Airstrip e Kololo...

Abantu beeyiye ku Airstrip e Kololo mu kivvulu ky'Omunigeria Wizkid

Nicho 220x290

Amagye gasazeeko ffaamu ya taata...

AMAGYE ne poliisi basazeeko ffaamu ya taata wa Bobi Wine omugenzi Wellington Jackson Ssentamu e Gomba.

Sevo 220x290

Museveni ayongedde ggiya mu kulwanyisa...

PULEZIDENTI MUSEVENI ayongedde ggiya mu kulwanyisa abali b’enguzi era n’awa amagezi abawa abantu emirimu mu bitongole...

Ppp2 220x290

Abantu 20 be bafa obulwadde bw'akafuba...

Bebe Cool akoowoodde Bannayuganda okumwegattako mu kulwanyisa obulwadde bw’akafuba emu ku ndwadde zi nnamutta mu...

Ucumussanyu9214 220x290

UCU Lady Canons ewangudde n'edda...

JKL Dolphins yeetaaga kuwangula nzannya bbiri ku UCU Lady Canons okusitukira mu kikopo kya sizoni eno.