Awo wennyini nnatandika okufunirawo enkolagana ey’enjawulo n’omuwala ono ne musaba ennamba y’essimu era gye byaggweera nga mmubuulidde gye mbeera era n’ansuubiza okujjayo andabeko.
Tewaayita bbanga ddene ng’omuwala ono ajja e Kabowa gye nnali mbeera okundabako. Yasanyuka kubanga mu kazigo kange mwe nnali mbeera kaali kalabika bulungi era nga kalaga nti ndi muvubuka eyeezimba.
Nakolagana n’omuwala ono okumala omwaka mulamba nga namuwa n’ekisumuluzo era nga waddembe okujja wonna waayagalira era yamala nakyo emyezi ebiri.
Essanyu omuwala ono lye yandaga saakirowoozaako nti kirabika yali amaze okulabamu eby’okubba.
Lumu nakomawo awaka nga nva okukola nga bulijjo, nasanga ennyumba yange eringa muzikiti nga temuli wadde akatebe wabula kkapeti yokka ng’omuwala yanzibye buli kimu.
Nabuuza ku baliraanwa bange oba baalabyeko ku muntu ayingira ewange kwe kuhhamba nga munnange bwe yaleese emmotoka ne baggyamu ebintu ne babitwala era nti baabadde bamanyi nti tusenguse.