TOP

Engeri akyayiddwa gye yezza obuggya

By Musasi wa Bukedde

Added 4th December 2019

Engeri akyayiddwa gye yezza obuggya

Un 703x422

Omusajja ng’ali mu birowoozo.

NULU Nassanga mukugu mu
kubudaabuda abafumbo agamba
nti omuntu okulekebwawo
kya bulijjo kuba tewali mbeera
Katonda gye yatonda nga
ya lubeerera wabula ekikulu
y’engeri gy’osobola okuyita mu
mbeera eyo.
Noolwekyo omusajja akyayiddwa
ebimu ku bintu by’alina
okukola okuyita mu mbeera
y’obukyawe nga talumiziddwa
nnyo bye bino wammanga.
Weewale okwesalira
omusango. Abantu abangi
bw’akyayibwa atandika okwesalira
omusango nga bw’ayinza
okuba nga ye yavuddeko
obuzibu, n’atandika okweraba
ng’atalina ky’ali era omukyala
w’amulekeddewo ebibye bibi.
Okwetereeza nsonga nkulu.
Omukazi bw’akukyawa
ekikulu si kwekubagiza wabula
okumanya buzibu bwo we
bwavudde ate kireme kukukosa
ne mu mukwano gw’oddamu
okufuna.
Manya ky’oyagala.
Omukyala bw’aba nga akuleseewo
kkiriza osooke omanye
ky’oyagala ng’omuntu weebuuze
by’obadde oyagala mu
mukyala eyagenze bw’obimanya
awo weebuuze oba tewali
muntu mulala ayinza kuba na
by’oyagala?
Bw’onoomaliriza okwefumiitiriza
ku bintu ebyo omutima
gujja kuba gumaze okukitegeera
nti ojja kusobola okufuna
omulala asinga ne gw’obadde
naye.
Kyeteekemu nti toli
bw’omu. Buli omuntu lw’olifuna
ekirungi katugambe okubye
embaga bw’oba ojaganya
kimanye nti si ggwe asoose
abantu embaga baazikuba
dda. Kino kijja kukuyamba ne
bw’onooba ofunye ekizibu ojja
kukitegeera nti si ggwe asoose
okukyayibwa abantu baabakyawa
dda ate ne babeerawo.
Weewale okweraba ng’atatuukiridde.
Ebiseera ebisinga
kibi nnyo omuntu okulemwa
okwekkiririzaamu kuba tewali
ajja kukukkiririzaamu. Bw’olaba
ng’omukazi akuleseewo, leka
kwetwala ng’aliko ekikubulako
wabula manya nti buli kimu
okirina okuggyako oyo akusuddewo
y’atasobodde kubiraba.
Kitwale nti akusuddewo
yakoze loosi. Buli lw’olowooza
ku ky’okuba nti omukazi
okukukyawa obeera okoze
loosi kijja kukukosa nnyo naye
okukyewala bw’olaba omukyala
agenze kitwale nti y’akoze loosi
olw’ebyo by’agenda okufi irwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Busy1 220x290

‘Nze ebya laavu nabivaako nneekubira...

BW’OBA onyumya n’omuyimbi w’ennyimba za laavu David Lutalo emboozi ye ewooma era mubeera mu kuseka n’okukuba obukule....

Gurad 220x290

Amasomero agatannafuna bigezo bya...

AMASOMERO agamu gakyalwana okuggyayo ebigezo by’abayizi baabwe ebya P7 mu UNEB, ekireese obweraliikirivu mu bazadde...

Won 220x290

Abagambibwa okuferera ku ssimu...

ABAVUBUKA abaakwatibwa oluvannyuma lw’okusangibwa n’obuuma obugambibwa nti babukozesa okubba kkampuni z’amasimu...

Pata 220x290

Abasajja bannemye okulondako

NNINA abasajja babiri era bombi bamalirivu okusinzira ku njogera n’ebikolwa. Naye omusajja omu alina abakyala babiri....

Send 220x290

Eyanfunira omulimu mufiirako

NZE Innocent Katusiime 29, mbeera Nakawa. Buli lwe ndowooza ku ngeri gye nnasisinkanamu maama w’omwana wange essuubi...