TOP

Nneebaza Mukama okumpa omutuufu

By Musasi wa Bukedde

Added 6th December 2019

MU buvubuka bwange, nalina omutima omunafu ku nsonga z’omukwano kubanga nali ntya abasajja olw’ebyo bye nnawuliranga abakyala bye baboogerera.

Dece 703x422

Kino kyandowoozesa nti abasajja bonna kye kimu ekintu ekyayongera okuntiisa era ne mmaliriza obutamala gawa musajja gwe seekakasa mutima gwange.

Ebiseera we byangenderera, nasalawo okuguma omutima ne nzigala amatu okuva eri mikwano gyange kuba ffenna tetufaanagana ate nga waaliwo ne be nnalabanga nga basanyufu mu mukwano.

Olwo ne ntandika okusaba Katonda ampe omusajja anampa essanyu ate nga twetegeera. Era bwatyo Katonda yaddamu essaala yange ne nfuna omuntu gwe nnalootanga.

Nze Asiya Nagawa 38, mbeera Bunnamwaya era maze emyaka 12 mu bufumbo n’abaana bataano.

Mu lugendo lwange olw’okufuna omwagalwa, nasaba Katonda okunkulemberamu era nali mwegendereza nnyo bwe nasisikana omwagalwa wange nga tuli ku ttendekero erimu.

Saasooka kumwemalirayo newakubadde nga yanjogereza okumala akabanga omwali n’okunnemerako okutuusa lwe nakkiriza.

Nneebaza Mukama kubanga essaala zange yaziwulira n’ampa omusajja omutuufu gwe njagala ate nga mwenyumirizaamu kubanga yaleeta essanyu mu bulamu bwange.

Ono yasangulawo ebigambo bakyala bannange bye baali bang'amba ebyandowoozesanga nti buli musajja mubi.

Ekisinga obukulu y’engeri omusajja wange gy’ampisaamu n’okundabirira obulungi ate ng’ampa ekitiibwa nga mukyala we ate mukwano gwe.

Anfaako, ampa emirembe ate nga mwetoowaze. Omukwano gwaffe tuguzimbidde ku kutya Katonda, obwesigwa n’okukola ennyo.

Bwe wabaawo obutakkaanya tubugonjoola mu kukkaanya. Omwami wange nneeyama okumwagala, okumulabirira n’obutamwabulira era omukwano gwaffe gulifa bukadde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bod1 220x290

Aba Boda boda babagobye ku njaga...

Aba Boda boda babagobye ku njaga ne babawa obujaketi

Ku1 220x290

Ebiku bizinzeeko essabo e Kawempe...

Ebiku bizinzeeko essabo e Kawempe bajjajja ne babuna emiwabo

Salma 220x290

‘Siyinza kuganza mwana ne kitaawe...

ABATUUZE b’e Namungoona baalabye katemba omukozi ne mukama we bwe beerangidde ebisongonvu lwa kumugoba ku mulimu...

Nakayenze 220x290

Bazzeemu okutiisatiisa omubaka...

OMUBAKA omukazi owa disitulikiti y’e Mbale mu Palamenti Connie Nakayenze Galiwango bimusobedde eka ne mu kibira...

Jake1 220x290

Musajja wa Trump akoze olutalo...

WAABADDEWO akasattiro mu Palamenti ya Amerika, omusajja omuwagguufu bwe yakubye abaserikale ekimmooni n’alumba...