TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Ebbinu lya Ssekukkulu lyavaamu amaziga: Baze yangoba lwe kwewaggula ne ngenda mu ndongo

Ebbinu lya Ssekukkulu lyavaamu amaziga: Baze yangoba lwe kwewaggula ne ngenda mu ndongo

By Musasi wa Bukedde

Added 10th December 2019

OMWEZI gwa December bwe gutandika bangi baba mu keetalo anti abatabeera mu kugula ngoye mpya waakiri babeera mu kunoonya misono gya buviiri eginakuba abalogo. Kino kitegeeza nti December mwezi gwa bikujjuko.

Howtoovercomefearofdating1 703x422

Naye ng’Abaganda bwe baagera nti ekinyumu ekingi kireka emmese obuwuulu, ne mu biseera bino ssinga omuntu teyeekomako kyangu okukifuuwa ng’akizza munda, anti ng’omukwano gusasise.

Nnaalongo Rebecca Agali ow’e Katwe agamba nti by’alabye mu bikujjuko by’ennaku enkulu tebiyinza kumuva mu mutwe era ennaku enkulu bwe zituuka n’afuna n’omukisa gw’okugabanako n’abalala tayinza kulemwa kubabuulirako bye yalaba.

“Emyaka ng’ebiri emabega e Katwe eyo gye nsula ku baliraanwa bange, omukazi yalina akabaga ke yali ayagala okugendako ne banne nga Decembre 23. Yasaba bba kyokka n’amugaana ye n’awalaza empaka n’agenda.

Omusajja olwakomawo nga munne Ebbinu lyavaamu amaziga... tamukubako kya mulubaale, ng’agula kkufulu ndala, ng’agiteeka ku luggi ng’agenda waabwe.

Omukazi agenda okudda ku ssaawa nga 7:00 ez’ekiro ng’oluggi lusibe ne gamwesiba. Yasalawo okudda mu banne era gye yasula.

Enkeera yakomawo ng’alowooza nti munne akomyewo naye teyamulabako. Ennaku enkulu bwe zaggwa omusajja n’akomawo ne mwana muwala ng’akwata kkubo kudda waka.

Wabula omusajja yamugaana okuyingira era obufumbo bwabwe awo we bwakoma.

Ng’oggyeeko abo, Agali agamba; Mu 1999 twali mu kyalo e Busoga omukyala ng’agenda alimba muganzi we nti ali waka kumbe yali agenze mu ndongo mu bubba.

Naye eby’embi nga binajja, mu bbaala mwe yali abasajja bwe baalwana eccupa yasibira ku mutwe gwa muwala!

Omusajja olwabitegeera yagambirawo omukyala bikomye wano. Hajjati Nazifah Namwanje w’e Kireka agamba nti ; Mu 2017 muliraanwa wange yatta mukazi we mu bikujjuko bya Ssekukulu n’okutuusa kati omusajja akyali Luzira.

Ku Ssekukkulu kwennyini omusajja ng’agenda mu ndongo, yaleka mukazi we bafunyeemu obutakkaanya olw’okugaana okumutwala.

Omusajja bw’adda ekiro oba omukazi yamugamba ki tewali yamanya omusajja ng’ava mu mbeera, olw’ettamiiro yasamba omukazi awabi era omukazi olwagwa eri ng’akala!

Omusajja bamukwata na kati akyali Luzira baamusalira gwa butemu!

Ye Nuuru Nassanga omukulu mu kubuulirira abafumbo agamba nti ng’oggyeeko ebintu abaamawulire bye basobola okutuusa ku bantu, bingi ebitamanyika ebibaawo mu bafumbo mu biseera by’ebikujjuko by’ennaku enkulu.

Nassanga agamba nti ebikujjuko by’ennaku enkulu kyangu nnyo okuleka amaka nga gaabulukuse elw’ebyo abantu bye batera okukoleramu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’