TOP

Ebitta obufumbo mu nnaku enkulu

By Musasi wa Bukedde

Added 10th December 2019

Biibino ebitta omukwano mu nnaku enkulu abafumbo oba abaagalana bye balina okwerinda

Depositphotos50056115stockphotounhappycouplenottalkingafter 703x422

1 Obubaga. Si kibi okugenda ku bubaga naye waliwo ekisukka. Ne bw’oba oyagala otya, toyinza kulowooza nti bwonna ojja kubumalayo wabula ekikulu kyandibadde nti ogenze ku kabaga ki era ogendako nakigenderwa ki? N’enzikiriziganya wakati wo ne munno nga tonnagenda kikulu. Ssinga olaba nti munno si mumativu n’akabaga k’ogendako kyandibadde kya buvunaanyizibwa n’okeesonyiwa.

2 Ebyokwambala. Ekimu ku bintu abantu bye basinga okulowoozaako mu biseera by’ebikujjuko kwe kwambala kuba buli omu aba ayagala okulabika obulungi.

Ku bakyala abamu, ssinga bba alemwa okumugulira olugoye waakiri anoba naye ng’omukyala tonnanoba sooka weebuuze ddala omuntu asobola okugaba ky’atalina? Ye waliwo omuntu atayagala mukyala we alabike bulungi ku Ssekukkulu?

3 Ebyokulya. Bagamba nti olubuto kyoto, era buli olukya omuntu aba yeetaaga okulya. Waliwo abasoowagana ng’entabwe eva ku butagula nkoko oba nnyama ku Ssekukkulu. Naye nga tonnasalira munno musango, manya nti ebintu mu sizoni eno biba ku buseera, noolwekyo osobola okufumba kyonna ky’aba aleese ne muyita mu lunaku.

4 Emikwano. Gino gitera okuwaga naddala mu biseera bino. Wabula nga tonnagendera kw’ebyo mukwano gwo by’akugamba, sooka weekubemu ttooci olabe oba nga ddala obyetaaga.

Okugeza bwe kuba kucakala, bw’aba agenda mu bifo bya bbeeyi, si kirungi naawe kugoberera naddala ng’ensawo yo teyimiridde bulungi. Bo abakyala bwe bagenda ku bikujjuko emikwano gimanyi okubeerabiza kye bali ewaka ne zituuka essaawa z’okudda awaka, wabula ne bamuwaga nga bw’anaddayo enkeera, kyokka nga bamanyi nti mufumbo.

5 Ebirabo ebigabwa. Bino bisobola okuvaako obuzibu mu ngeri bbiri, kye wandifunye okuva eri omwagalwawo n’ebiva eri abalala. Abasajja abamu mukazi we bw’afuna ekirabo ekinene okuva ew’omuntu gwe yeekengera ekyo kiyinza okumutabula.

Ekirabo era kisobola okuleetawo obuzibu ssinga omukyala abeera asuubira ekirabo ky’olunaku okuva ew’omwagalwa we n’atakifuna oba n’afunana ekitono ku ky’abadde asuubira. Ssinga abafumbo n’abaagalana tebeefuga mu sizoni eno nga bakola ebiyamba okuzimba laavu yabawe, kyangu okuggweerawo ddala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab12 220x290

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e...

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e Mityna kuzzeemu kigoye wezinge

Gwe1 220x290

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo...

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo omwana we ew'omusamize bamusadaake

Nkumba2jpgweb 220x290

Abadde ayingira mu ofiisi z'ebizimba...

Allan Nkumba omutuuze w'e Kabowa mu Sserwadda zooni ye yakwatiddwa poliisi ya CPS ku Lwokusatu oluvannyuma lw’okugenda...

Sjpgweb 220x290

Eyanfunira omulimu mufiirako

Nze Innocent Katusiime 29, mbeera Nakawa. Buli lwe ndowooza ku ngeri gye nnasisinkanamu maama w’omwana wange essuubi...

Nsamba22pulaaniusewebuse 220x290

Mukuume obumu musobole okwekulaakulanya...

Ab'ekika ky'Engabi beetaaga obukadde 13o okuzimba ekiggwa kyabwe