TOP

Mpulira saagala bya kwegatta

By Musasi wa Bukedde

Added 10th December 2019

Saagala kwegatta na mwami wange, ate nga mmwagala bulungi nnyo. Nnali sirina kizibu kino naye omwaka guno nalekera awo okulwala, bakyala bannange ne baηηamba nti obwagazi bukendeera bw’olekera awo okulwala. Kati ssenga nkoze ntya ku nsonga eno. Omwami wange alowooza nnina omusajja omulala naye nga sirina.

Fana 703x422

Omukyala oba omusajja yenna bw’akula kituufu obwagazi bukendeera. Naye tekitegeeza nti obwagazi buggwaamu.

Ate era abantu eb’enjawulo oyinza okusanga omukyala oba omusajja nga mukulu naye ng’alina obwagazi nga obw’omuvubuka.

Kati bw’olekera awo okulwala mu butonde era obwagazi bukendeera. Ndowooza kino Mukama yakikola kubanga omugaso ogw’okwegatta, okuzaala guba tegukyaliiwo.

N’ekirala mwana wange oluusi abakyala abateeka endowooza mu bwongo nti nga bw’amaze ebyokulwala talaba lwaki yeegatta kubanga n’ebyokuzaala bikomye.

Bwoteeka endowooza eno mu bwongo era weesanga nga toyagala kwegatta. Era kiringa abakyala abamu bwe bateeka endowooza nti baamala okuzaala kale tebalina kwegatta.

Mu mbeera eyo n’obwagazi bubula. Olina okwebuuza oba ebirowoozo mu bwongo wabikyusa. N’ekirala okukaddiwa tekitegeeza nti tolina kwegatta.

Omuntu yenna alina eddembe okwegatta bw’aba awulira ng’akyayagala ate ng’atuuse. Kitegeeza nti baana abato tebalina kwegatta okutuusa nga bakuze.

Kati tereeza ebirowoozo. Osobola n’okulaba abasawo abatendeke abakola ku nsonga z’abakyala nabo abasobola okukuyamba ne bakuwaayo eddagala erikuyamba okuzza obwagazi obwo .

Olina okujjukira nti omusajja asigala ayagala okwegata naawe era okulekera awo okulwala omwezi tekireeta mbeera yakukyawa kwegatta.

N’ekirala oba waliwo ekizibu ekiri mu maka ekireese embeera eno. Oluusi ebizibu mu maka bireteera omusajja oba omukyala okukyawa okwegatta.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tege 220x290

Kyokka mwana ggwe Lydia Jazmine!...

MWANAMUWALA Lydia Jazmine abamu gwe bayita muninkini wa gundi yamalayo. Akola bimusanyusa nga tafuddeyo ku bantu...

Kuba 220x290

Eyagaba abalongo bange yantamya...

NZE Charles Adwor, mbeera Mukono. Nasisinkana munnange mu 2014 nga nkyabeera e Jinja. Ebiseera ebyo nalina omulimu...

Melon1 220x290

Weyune enkola ya kontulakiti ofunemu...

OKUKOLA kontulakiti n’omuguzi y’emu ku ngeri omulimi n’omulunzi mw’asobola okuyita okufuna akatale k’ebintu bye...

Remagrad2 220x290

Rema alangiridde bw’addayo ku yunivasite...

REMA Namakula alangiridde nga bw’agenda okuddayo ku yunivasite e Kyambogo amalirize diguli ye omwaka guno oluvannyuma...

Kadodi 220x290

Emmotoka esse 8 abazina akadodi...

ABANTU 8 ababadde bazina akadodi bafiiridde mu kabenje n’abalala ne bagenda n’ebisago ttakisi bwe yabasaabadde...