TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Omusajja bwe yatandika okweraguza ne mmuviira

Omusajja bwe yatandika okweraguza ne mmuviira

By Musasi wa Bukedde

Added 11th January 2020

NZE Lausa Kengasi 29, mbeera Sanga Matugga mu disitulikiti y’e Wakiso. Twasisinkana ne baze mu 2014 e Ziroobwe. Nnali nkola gwa kulima nga mpakasa ku kyalo ate nga baze akola gwa kwokya manda ng’agaleeta e Kampala okugatunda.

Yahweh 703x422

Engeri gye nnali mupakasi ku kyalo, n’ewaabwe nabalimiranga ne bampa ssente okumala akaseera awo we yatandikira okunkwana n’antegeeza nga bwe yanjagalirawo nga yaakandaba Twatwala akabanga naye oluvannyuma nnamala ne nzikiriza ne tutandika okwagalana.

Omukwano gwaffe gwatandikira mu ggiya era we twava baze n’ansaba tutandike okubeera fenna.

Olw’okuba nti ye yalina ku ssente okunsinga, nnakkiriza tubeere ffembi nga nnina essuubi nti osanga embeera yange eneekyukamu engeri gye nnali nfunye omusajja alina ku ssente ate ng’anjagala.

Emyaka ena gye nnamala naye, omukwano gwaffe gwali gutambula bulungi ne tuzaala n’omwana omuwala.

Wabula nga wayise ekiseera, baze yatandika okukyuka n’atandika okuboggoka n’okunkuba olutatadde wabula ne hhumiiikiriza wadde ng’embeera yatuuka ekiseera n’entabukako.

Baze yatuuka ekiseera n’atandika okugenda ku basawo b’ekinnansi okweraguza. Ebyavaamu byali bya kweyita musawo Muganda era ng’abantu bajja awaka nti bazze kubajjanjaba ekintu kye nnali sikkiriziganya nakyo.

Nze ndi mukyala akkiririza mu Katonda era seeraguzangako ate ng’alinga ankaka nange mwegatteko. Olw’embeera eyo nasalawo okumuviira era bwetutyo ne twawukana.

Wabula obuzibu bwe nsanze nti bwe nayawukana naye, n’agaana okuddamu okutuwa obuyambi n’omwana wange era ndi mu mbeera mbi kuba sirina mulimu ate ng’omwana atuuse okusoma.

Nsaba abasomi ba Bukedde okunnyamba nfune kye nkola nsobole okulabirira omwana wange.

Naye nsaba omulimu ogwo gubeere nga gunzikiriza okugenda ne nsaba ku Lwomukaaga kuba ye Sabiiti yange.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lim1 220x290

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako...

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako omujaasi omutwe ne gubula

Wez1 220x290

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza...

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza eri abantu be Buikwe

Fut2 220x290

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga...

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga abaana ebikolwa eby'ekikaba

Fut1 220x290

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana...

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana baganzi be

Sad1 220x290

Engeri abazadde gye bayingiza abaana...

Engeri abazadde gye bayingiza abaana mu nsonga z’obwenzi