TOP

Mikwano gy’omwami wange sigyagala

By Musasi wa Bukedde

Added 11th January 2020

OMWAMI wange alina emikwano gye saagala naye agaanye okugivaako. Emikwano gino si bafumbo era basula bacakala ate banywa nnyo omwenge. Ssenga nkoze ntya ku nsonga eno?.

Ssengalogo 703x422

OLOWOOZA osobola okulondera balo emikwano gy’alina okubeera nagyo? Nze ndaba ekyo tekisoboka, ye kennyini y’alina okusalawo ku mikwano gye wadde osobola okumuwabula oba okumugambako.

Munno ayinza okuba nga yafuna obufumbo naye nga banne baasigala si bafumbo. Kino tekimugaana kusigala na mikwano gye. Ye kennyini y’alina okumanya nti mufumbo era ne yeeyisa nga mufumbo.

N’ekirala, kirungi omusajja okusigala ng’alina mikwano gye kubanga naawe wasigala ne mikwano gyo wadde nga wafumbirwa. Omwami wo y’alina okumanya nti mufumbo era alina obuvunaanyizibwa.

Kati mu bufumbo olina okubuulirira munno naye ng’okikola mu mukwano. Tomugamba nti nze saagala mikwano gyo.

Wabula mugambe nti mbadde nsaba ojjukire nti oli mufumbo ng’oli ne banno.

Omanyi abantu batali bafumbo obuvunaanyizibwa bwa njawulo. Sikugaana kubeera na banno naye jjukira nti oli mufumbo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fut2 220x290

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga...

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga abaana ebikolwa eby'ekikaba

Fut1 220x290

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana...

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana baganzi be

Sad1 220x290

Engeri abazadde gye bayingiza abaana...

Engeri abazadde gye bayingiza abaana mu nsonga z’obwenzi

Lip21 220x290

Agambibwa okusaasaanya obutambi...

Agambibwa okusaasaanya obutambi bw’okutta Nantaba addukidde wa Akullo

Sat15 220x290

Abakiise e Mengo batabuse lwa baserikale...

Abakiise e Mengo batabuse lwa baserikale abakuba abantu ba Kabaka