TOP

Gwe nnayingira naye omwaka yanziba

By Musasi wa Bukedde

Added 11th January 2020

OMUWALA gwe nnafuna nga mulabye nga malayika ne mmulekanga ajje akyale ewange ne ntuuka n’okumulekanga mu nnyumba yakinkola.

Feel 703x422

Nze Henry Ssettuba, mbeera Nateete. Nnafuna omuwala nga mulungi lwondo era nange nnayagala ntandike omwaka omuggya 2020 nga nnina anfumbira olwo nange omwaka nguyingire n’ekyenjawulo naye kyanzigwako.

Okuleka omuwala ono mu nnyumba nnali mwesize ebitagambika kubanga yali yeegonza nga ndowooza nfunye omuntu omutuufu kumbe ngudde ku musege.

Okumanya omuwala ono yali muyaaye, buli kye namugambanga ng’akitwala nga kikulu era nga tankaayanya. Nali simanyi nti yali yeenoonyeza bibye ng’anoonya luwenda kutuukiriza biruubirirwa bye.

Olumu yajja n’amalawo wiiki bbiri n’agenda nga talina kintu kyange na kimu ky’atutte ekintu ekyayongera okunkakasa nti omuwala ono mwesimbu era agwanira awaka.

Ekyanneewuunyisa ye muwala ono okudda ate mu kifo kye yandibadde akuuma obuntubulamu yanziba bubbi ebintu byange omwali omufaliso n’engoye ate n’amala n’akola eky’obujoozi n’ankubira essimu n’ahhamba nti ye agenze.

Kino kyansigala kimbobbya omutwe nga simanyi na waakutandikira kubanga n’ewaabwe nnali simanyiiyo okuggyako okuwulira nti bamuzaala Kiboga.

Okuva omuwala oyo lwe yanziba, mpulirira ddala ekizibu okuddamu okwemanyiiza abawala b’e Kampala ate naddala nga simanyi gye bamuzaala kubanga eyanziba yandaga essomo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lim1 220x290

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako...

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako omujaasi omutwe ne gubula

Wez1 220x290

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza...

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza eri abantu be Buikwe

Fut2 220x290

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga...

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga abaana ebikolwa eby'ekikaba

Fut1 220x290

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana...

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana baganzi be

Sad1 220x290

Engeri abazadde gye bayingiza abaana...

Engeri abazadde gye bayingiza abaana mu nsonga z’obwenzi