TOP
  • Home
  • Ssenga
  • By’okola lwe bisindika omwagalwa wo mu bwenzi

By’okola lwe bisindika omwagalwa wo mu bwenzi

By Musasi wa Bukedde

Added 14th January 2020

OMUZE ogwongedde okusensera abafumbo n’abaagalana ng’ennaku zino guli nnyo ku mimwa gy’abantu gwe gw’obwenzi.

Byokola1 703x422

Obutawa muganzi wo budde n’odda ku bibyo oluusi kimumalamu amaanyi n’akulaba ng’atafaayo.

OMUZE ogwongedde okusensera abafumbo n’abaagalana ng’ennaku zino guli nnyo ku mimwa gy’abantu gwe gw’obwenzi.

Ate nno kati tegutaliza basajja na bakazi.

Ku bamu, gulinga muzimu ogubalinnya nga tebasobola kutuulira awo nga tebakoze bwenzi.

So nga waliwo abasoberwa olw’okunyigirizibwa n’embeera gye babeeramu ng’okwetaasa oba obuddukiro ate bakola bwenzi.

Obadde okimanyi nti waliwo ebintu by’oyinza okukola ne bisindika muganzi wo mu bwenzi oluusi nga togenderedde oba olw’embeera gy’oteekawo mu mukwano gwammwe.

Ku wiikendi eri nnabadde ηηenzeeko mu kirabo ky’emmere akawungeezi okufuna kyenziza eri olubuto kwe kuliraana abakyala basatu nabo abaabadde ku caayi nga boogera ku mbeera ze bayitamu oluusi ne beesanga nga babalize mu mukwano.

 kunyiiga nobukambwe obususse buyinza okuleetera omwagalwa wo omutima okumwennyika Okunyiiga n’obukambwe obususse buyinza okuleetera omwagalwa wo omutima okumwennyika.

 

Mu kwogera kwabwe, kuba baabadde basatu, nasobodde okufunako amannya g’ababiri okwabadde Teddy, Grace so nga owookusatu bakira bamuyita Maama Junior.

Mu kwogera nasoose kugoberera ebyabadde byogerwa Teddy:

Teddy: Omusajja owange ennaku zino mulaba nga kifaananyi. Mazima sizoni w’etandikidde awo mu December namusaba ampeeyo ku ssente nnyongere okusuubula ku ngoye kuba zibadde ‘zitambula’ (ng’ategeeza okugulibwa) kyokka yadda mu kukaaba nga luggi lwa tooyi….

Yampoleza njiiyize mu bannange, nfuneyo ampola mbu tunaamuddiza nga sizoni ewedde.


Mazima ku kanaayokyani wa December oyinza kuggyawa akuwola ssente…..nange sadda mu kwerumya mutwe nga ηηenda wa ‘kikwano’, Micheal anti y’ammanyidde ku nnaku……

Grace: Kati olwo z’oddiza Micheal waziggyeemu…..

Teddy: (enseko) ate oyo aliko okuddiza….. ebyoyo okusasula bibeera bya kwewuuba.
(bonna baseka).

Maama Junior: Mmwe nno kale muli ku bya bizinensi, nze owange akameeza aleka si kasanyufu bulungi. Bw’omugambako nga bwe ziri entono ng’addamu nti munyigirize mufune ebigya mwezo. Nze nno ndi mu akasiba naye waliwo omukazi muliraanwa wange ye aηηamba kaati nti alina mukwano gwe owa bodaboda agattawo.

Grace: Nze ekyannyiiza ku wange nagwa ku bifaananyi mu ssimu ye bye yeekubya n’omuwala nga beekutte mu kivvulu. Ekifaananyi kino kyamuweerezebwa muwala
era bwe nnasoma obubaka obulala mu WhatsApp ye, nnalaba amuwaana nti ‘bbulawuzi ne sikaati bye wampeerezza byabadde bisuffu….kikwano thank you for loving me…’ Baana mmwe nawulira nga nsiridde era okuva olwo nange nakyusaamu
kati nkola binnyumira.

Embeera zino ziraga nti abakyala beekyawa oluusi ne bawalirizibwa okukola obwenzi
mu ngeri ya kwesasuza olw’ebyo babbaabwe bye bakoze so nga mulimu
ababukola olw’okwagala okuyita mu kusoomoozebwa.

 rossy amayanja bwesigwa neddiini ennaku zino bikendedde mu bantu kati abafumbo abamu babeera awo nga buli omu teyeesiga munne era omuntu gwoteesiga bulungi kizibu okumulaga omukwano ogujjudde ino kye kireetera nabamu okuwankawanka Prossy Namayanja: Obwesigwa n’eddiini ennaku zino bikendedde mu bantu kati abafumbo abamu babeera awo nga buli omu teyeesiga munne era omuntu gw’oteesiga bulungi kizibu okumulaga omukwano ogujjudde. Kino kye kireetera n’abamu okuwankawanka.

 

By’oteekeddwa okukola okutereeza embeera

SSENGA Edith Mukisa abuulirira abafumbo n’abaagalana agamba nti waliwo embeera abakyala ze bateekawo ezivaako abasajja okwekyawa oba okusoberwa.

Agamba nti waliwo ebiseera ensimbi bwe zibula ng’omukazi okudda ku bba n’azimupeeka abeera takoze bwenkanya. Agamba nti omukazi nga bwe zibeera zimubuze n’omusajja gw’azikanda zisobola okumubula.

Mukisa agamba nti awaka wabeerawo ebyetaago bingi omuli okugula emmere, okusasula ffiizi, ebikozesebwa awaka okusasula amasannyalaze, amazzi, kasasiro, ennyumba n’ebirala ng’ebiseera ebisinga babitunuuliza musajja.

Agamba nti ebintu nga bino oluusi bireetera omusajja situleesi gy’atwala mu buliri n’amulemesa okubaako kye yeekolera oba okukola amajaani ate olwo omukyala
n’ayomba.

Ku nsonga y’abalaga baganzi baabwe nga bwe bakola obwenzi yagambye nti kino kiterebula munno n’akendeeza n’omukwano gw’abadde akuwa. Agamba nti essimu zikoze kinene okutabula obufumbo olw’ebifaananyi n’obubaka ebiwaanyisiganyizibwa ate ne bitasiimuulwa. Wabula yalabudde abaagalana okwewala okukeberanga essimu za bannaabwe.

Mukisa yannyonnyodde nti waliwo abakyala abagenda mu bwenzi mu ngeri y’okwesasuza olw’okuba omusajja naye akola obwenzi.

Yalabudde nti kino kye kimu ku bivaako okufuna endwadde nga siriimu olw’obutanywerera ku mwagalwa omu.

Mukisa yalabudde abakyala ku nsonga y’okuyombayomba n’obucaafu n’agamba nti bimalako abasajja emirembe oluusi ne bikendeeza n’ebiseera bye bamala awaka olwo abatali bagumiikiriza ne bakomekkereza nga bagenze mu bwenzi.

Ate Ssenga Naluggya Tomusange yabuuzizza ensonga ereetera abakazi okukuba babbaabwe emigongo oba okusula nga beekapise mu biwale. Agamba nti omusajja yandibadde akavvula buli lw’ayagadde okuggyako nga munne mulwadde oba ng’ali mu nsonga.

Agamba nti ne ku mulembe guno ogw’okwambala ‘night’, zisaana okubeera mu ngeri ya kamasu; ng’etangaala nga kyenkana olaba omubiri gw’omukyala gwonna, nga nnyimpi oba nga tebikka kifuba ng’amabeere kyenkana gabikkiddwako nnywanto zokka.

Ku basajja abatamatiza baganzi baabwe mu kitanda yabawadde amagezi okulya ebintu ebibongera ku mbavu okugeza gonja naddala omwokye, balugu, ebiryo by’ensujju, engabo ya kabaka ne wootameroni.

Ku bakazi bannabukalu abatasanyusa bulungi babbaabwe olw’ekkubo eritayiringita bulungi basobola okugezaako, okrah, enderema, ekibwankulata mpozzi n’okujjumbira okunywa amazzi agabuguma.

 

Ebisinga okusindiikiriza abasajja

Ku ludda lw’abasajja mulimu abakazi abamalako babbaabwe emirembe awaka ekibatuusa okunoonya awalala awabawa emirembe n’essanyu. Teebereza omusajja
buli lw’abeera awaka omukazi n’abeera mu kuyomba ne mu busonga obutaliimu.

Omusajja lw’asirise ne bamuvuma okutuggubala naddala nga waliwo kye yakoze ne
kitanyumira mukyala.

Ekisinga okunyiiza abasajja awaka ye mukazi okumukuba omugongo oba okumuzira
mu buliri. Abakyala bwe babeerako ekibanyiizizza batera okussaawo enkola ky’okwesala ebiwale oba okutunula ku kisenge okulemesa omusajja okumukwatako.

Mulimu n’ababiyomberamu ng’oluba okumukwatako n’amansula eri omukono gw’omusajja. Enneeyisa eno ereetera abasajja okwekyawa oluusi n’ebasindika okubaliga.

Ennaku zino abakyala bajjumbidde nnyo okukola okwongera ku ssente ze bayingiza
mu nsawo zaabwe. Wabula abamu tebamanyi kukwasaganya mirimu na kulekawo
budde bw’awaka oba obw’omusajja.

Ab’engeri eno oluyimba lwa ‘nkooye nnyo olwaleero’ terubava ku mimwa. Omusajja
n’afuna n’okutya okumutandikako era ekiva mu kino kunoonyaayo mukazi mulala anaamuwa obudde.

Obadde okimanyi nti mulimu abakyala abatamanyi kucamula basajja baabwe mu buliri. Waliwo abalinga omuteteme nga tebavaamu kanyego na kwenyenya. Abalala
babeera ba ‘nnabukalu’ nga mu butuufu omusajja talina ssanyu ly’afuna mu kitanda.

Wano abasajja abamu we babaligira nga banoonya essanyu awalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lim1 220x290

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako...

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako omujaasi omutwe ne gubula

Wez1 220x290

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza...

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza eri abantu be Buikwe

Fut2 220x290

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga...

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga abaana ebikolwa eby'ekikaba

Fut1 220x290

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana...

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana baganzi be

Sad1 220x290

Engeri abazadde gye bayingiza abaana...

Engeri abazadde gye bayingiza abaana mu nsonga z’obwenzi