TOP

Nkole ntya okwefunza?

By Musasi wa Bukedde

Added 15th January 2020

Ssenga nina ekizibu, obukyala bwange bugazi nnyo naye nkozesezza buli ddagala naye siraba njawulo. Abantu bahhamba nti nina okulaba omusawo bannongoose. Ntya okunnongoosa naye n’amaka gafa. Omwami wange agezaako naye olaba ng’oluusi bigaana. Nkole ntya ku nsonga eno?

Ssenga1703422 703x422

Ssenga nina ekizibu, obukyala bwange bugazi nnyo naye nkozesezza buli ddagala naye siraba njawulo.

Abantu bang'amba nti nina okulaba omusawo bannongoose. Ntya okunnongoosa naye n’amaka gafa. Omwami wange agezaako naye olaba ng’oluusi bigaana. Nkole ntya ku nsonga eno?
 
WADDE abantu bangi bagamba nti basobola okufunza obukyala naye kino tekisoboka naddala bwe kuba ng’okugaziwa kwava mu kuyulika ng’ozaala ate ne batakutunga bulungi.

Okufunza okusoboka kwekwo ng’ogaziyeemu katono naye si kuyulika. Kituufu balina kukutunga so si kukulongoosa nga bwe bakugamba.

Era kibeera nga bwe bakusannyalaza ng’ozadde basobole okukutunga. Tebakusannyalaza wenna, wabula ekitundu ekyo kyokka kye bagenda okutunga. Kale totya nti bya kulongoosa, wabula basannyalaza awo wokka.

N’ekirala, ndowooza omanyi lwaki wafuna embeera eno. Bw’ozaalira awaka kyangu okufuna ekizibu nga kino n’ekirala singa tonywa ddagala ng’oli lubuto kubanga mu kunywa eddagala abasawo bakubuulira oba tosobola kusindika mwana nga munene nga balina kukulongoosa. Kati bw’osindika omwana nga munene asobola okukuyuza.

Ate oluusi omwana abeera nga si munene naye mu kuzaala n’oyulika kati ne batakutunga omusawo n’akuleka bwatyo kubanga talina bisaanyizo bitunga.

Oluusi ayinza okukuyamba n’akugamba nti genda mu ddwaaliro eddene bakutunge ate oluusi asirika n’ogenda n’embeera eno omusajja y’akugamba oba gwe kennyini okwezuula ng’oli mugazi.

Genda mu ddwaaliro eddene ate olabe omusawo nga mukugu ku nsonga eno alina kubeera nga akola ku nsonga z’abakyala ezokuzaala (gynaecologist).
Nkubira essimu nkulagirire omusawo oba genda mu ddwaaliro eddene. Essimu yange eri 0772458823.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Troubled 220x290

Oulanya agugumbudde abazadde abataweerera...

Omumyuka wa sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanya agugumbudde abazadde abeesuuliddeyo ogwa nnaggamba okuweerera abaana...

Young 220x290

Abalokole batadde Gavt. ku nninga...

ABASUMBA b’abalokole batadde gavumenti ku nninga okubawa layisinsi ezibakkiriza okugatta abagole wabweru w’ekkanisa....

Kolayo 220x290

Bayisizza bajeti ya bukadde 200...

ABASUUBUZI mu Kikuubo ne Nabugabo bakungubagidde maama w’omugagga Moses Kayongo nnannnyini Mt. Zion Hotel esangibwa...

Kola 220x290

Agambibwa okubba kasooli bamukubye...

ABASERIKALE ba LDU baliko omuvubuuka gwe bakutte lubona mu lusuku ly’omutuuze ng’abba kasooli ne bamukuba amasasi...

Okutulugunya abakyala kweyongede...

Joan Nakilanda nga ono Alina emyaka 21 yafumbirwa nga alina omyeka 17 era nazala omwana we asoka neba. Oluvanyuma...