TOP

Omuwala anyirizza sitoma

By Musasi wa Bukedde

Added 16th January 2020

NGA bwe bagamba nti, omukwano teguzibirwa kkubo, nange bwe kityo kyantuukako olwaba okuvubuka kubanga nange gwantandikirawo. Nze John Kamba, mbeera Gema - Miseebe mu Mityana.

Save 703x422

Bwe nnali naakavubukamu, obutonde ne butandika okummanja era nagwa ku mwana muwala omulungi lwondo, olwaba okumulabako omutima ne gunkubirawo nga mu butuufu mmwegombye.

Ng’omuvubuka yenna omuvumu era atasiba zikweya nasalawo okutuukirira omuwala ono mu ngeri ey’obuwombeefu n’obwetoowaze era ng’ekyayongera okunsanyusa kyali nti, ne mwana muwala ono teyankaluubiriza kubanga kye nnamunnyonnyola yakitegeera mangu.

Oluvannyuma lw’okukwatagana n’omuwala ono nasalawo okumusaba ennamba y’essimu era naye yagimpa nga kino kyannyamba okwongera okwennyon nyolako okukkaatiriza obulungi ensonga yange.

Nga wayise akabanga katono, natandika okunyweza omukwano gwaffe era nga naye yatandika okunkolera ebintu ebinkakasiza ddala nti, munnange.

Omuwala ono n’okutuuka leero enkolagana yaffe yanywerera ddala era nga wadde sinnamuwasa naye andabirira mu bintu ebimu era nga n’oluusi angololera ku ngoye zange nange ne ntambula mu bantu nga nnyirira okwawukanako ne bwe kyali.

Ku muwala ono by’andaze nnyongera kumusabira Katonda buli lunaku ayongere  okunkuuma naye tugende mu maaso n’enkolagana yaffe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Troubled 220x290

Oulanya agugumbudde abazadde abataweerera...

Omumyuka wa sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanya agugumbudde abazadde abeesuuliddeyo ogwa nnaggamba okuweerera abaana...

Young 220x290

Abalokole batadde Gavt. ku nninga...

ABASUMBA b’abalokole batadde gavumenti ku nninga okubawa layisinsi ezibakkiriza okugatta abagole wabweru w’ekkanisa....

Kolayo 220x290

Bayisizza bajeti ya bukadde 200...

ABASUUBUZI mu Kikuubo ne Nabugabo bakungubagidde maama w’omugagga Moses Kayongo nnannnyini Mt. Zion Hotel esangibwa...

Kola 220x290

Agambibwa okubba kasooli bamukubye...

ABASERIKALE ba LDU baliko omuvubuuka gwe bakutte lubona mu lusuku ly’omutuuze ng’abba kasooli ne bamukuba amasasi...

Okutulugunya abakyala kweyongede...

Joan Nakilanda nga ono Alina emyaka 21 yafumbirwa nga alina omyeka 17 era nazala omwana we asoka neba. Oluvanyuma...