TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Mukyala wange tamanyi kulabirira baana

Mukyala wange tamanyi kulabirira baana

By Musasi wa Bukedde

Added 26th January 2020

MUKYALA wange tamanyi kulabirira baana be era omukozi y’alabirira. Omukozi bw’agenda, awaka tubeera bacaafu, abaana basiiba bakaaba anti mukambwe era oluusi n’ekyeggulo kigaana anti angamba nti akoowa. Omukozi amusinga obuto naye alina obuvunaanyizibwa ku baana era n’amaka gonna. Ssenga ono bw’anaakula okusinga wano taafuuke kifaananyi mu nju? Mpulira njagala kumwetegula mangu.

Pata 703x422

OYAGALA kumwetegula ogende wa? Omukyala ono gwe wamwefunira era kiba kirungi okubeera naye nga omubuulirira oba okufuna abantu abasobola okumubuulira.

Ennaku zino, kiba kirungi ng’olonda omukyala osooke kumwetegereza.

Weebuuze oba ddala asobola okubeera maama w’abaana omulungi. Ekyo abavubuka bangi temukifaako naye nga kikulu ng’onoonya omukyala ow’okuwasa.

Abawala abamu ennaku zino tebaagala kukola era bagayaavu. Abalala bakuze abakozi be babakolera awaka buli kimu.

Kati bw’ofuna ng’oyo nga mukyala wo, omanya nti olina okufuna omukozi anaakola buli kimu awaka.

Bw’osalawo okuzaala, olina okumanyi nti olina okufuuka maama naye abawala abamu kino tebakifaako Maama alina okuba n’obuvunaanyizibwa ku baana be ate era omukyala awaka.

Nkubira ku 0772458823 twogere.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det1 220x290

Jamil Mukulu asabye okweyimirirwa...

Jamil Mukulu asabye okweyimirirwa

Nom1 220x290

Poliisi etaddewo ebiragiro ebipya...

Poliisi etaddewo ebiragiro ebipya ku bidduka

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka