TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Nagenda okuva mu kkomera nnasanga omuwala anzibye

Nagenda okuva mu kkomera nnasanga omuwala anzibye

By Musasi wa Bukedde

Added 26th January 2020

NZE Joshua Kayiira nga ndi musuubuzi mu kibuga Kampala naye nga mbeera Kawaala.

Ni 703x422

Nnalina kasitoma wange nga mukyala naye ng’ajja n’angulako obugoye obunyirira naddala obuli ku mulembe kubanga yali mwambazi mulungi era okunyirira kwe kwampaliriza okumusonseka akagamba ate naye n’akkiriza.

Lumu nnali ku mulimu nga ntunda ngoye ku nguudo za Kampala, abaserikale abaali batatuukkiriza kukolerawo ne bankwata ne bantwala e Luzira gye nnamala omwezi mulamba.

Mu wiiki ssatu ezaasooka nga ndi Luzira, yasooka n’ajja okunambulako naye olumu yajja n’antegeeza nti landiroodi amubanja ssente z’ennyumba era yamugobye mu nnyumba nga yali atandise kubeera wa muganda we kyokka ng’alimba.

Ku bbanga ery’omwaka lye nnali mmaze nga mbeera n’omukyala ono, nnali simusuubiramu buyaaye era nga mwesiga.

Ku lunaku lwe banta okuva mu kkomera e Luzira, omukyala ono yajja n’annonako naye bwe twatuuka mu kibuga, kwe kuhhamba nga bwe yali agenda ewa muganda we era nange saamukaluubiriza ne mmuleka.

Yalowooza nti nnali hhenze kyokka nga nasigala mulinnya akagere okukkakkana nga ntuuse ku nnyumba gye yali apangisa nga n’ebintu byange byonna yabyezza.

Nagezaako okubimusaba n’agaana nange kwe kusalawo okumwesonyiwa.

Nakola ebintu ebirala ne nfuna n’omukyala omulala nga kati tulina n’omwana era obulamu butambula bulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sam2 220x290

Sam Mukasa ayingidde goloofa ye...

Yiino goloofa ya Sam Mukasa eyogeza banne obwama!

8714805438505141082996706452061019224145920o 220x290

Museveni ne Kagame basisinkanye...

Kyaddaaki Pulezidenti Museveni ne mukulu munne owa Rwanda, Paul Kagame beefumbye akafubo ku nsalo ya Uganda ne...

Kasa 220x290

Maama kalimunda tonyiga bbebi ennyindo...

ONO maama kalimunda tatya kunyiga bbebi nnyindo olw’engeri gy’akulukuunya olubuto lwe ku musajja.

Omukyalangaatudde 220x290

Laba byana biwala ebyanywa amata...

Bw’oba otambula, osanga ebyana ebitambulira mu bibinja nga byesaze obugoye obukulengeza ‘waaka’ nga ‘n’ebithambi’...

Firimu 220x290

Eyali asoma obwafaaza alumbye Mbarara...

FERDINAND Lugobe Pike eyabulako akatono okufuuka omusosodooti ayingidde ekisaawe ky’okuzannya Ffirimu.