TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Kozesa Valentayini eno onyweze laavu yammwe

Kozesa Valentayini eno onyweze laavu yammwe

By Musasi wa Bukedde

Added 11th February 2020

OKUBEERA mu bufumbo obweyagaza lye limu ku ttoffaali erikuyamba okubeera omulamu obulungi. Era y’ensonga lwaki buli muntu yeegwanyiza okuwangaalira mu bufumbo n’omuntu gw’ayagala.

Love 703x422

Gerald Kizza okuva e Luwero ng’ali ne mukwano gwe Flavia Nakasi. Bano be bamu ku baawangula akazannyo ba Bukedde TV okwetaba ku kijjulo kya Valentine ekyategekebwa ku Silver Springs Hotel mu 2016.

OKUBEERA mu bufumbo obweyagaza lye limu ku ttoffaali erikuyamba okubeera omulamu obulungi. Era y’ensonga lwaki buli muntu yeegwanyiza okuwangaalira mu bufumbo n’omuntu gw’ayagala.

Wabula tewali ali mu bufumbo butuukiridde kuba ekiseera kituuka nga munno tokyamutegeera oba olyawo nga naye takutegeera, n’otuuka n’okulowooza nti oba olyawo mwandikitadde, ng’enjogera y’ennaku zino bw’eri.

Ggwe ali mu mbeera eno, ng’okyebuuza ebibuuzo bino naye nga tolina kyakuddamu, ku lunaku lw’abaagalana luno, bino wammanga bye bimu ku by’oyinza okukoppa okuzzaawo laavu yammwe n’enywera.

Hillary Bainemigisha amanyiddwa nga Dr. Love, omukugu mu kusengeka ensonga z’omukwano mu lupapula lwa Newvision agamba nti okunyweza omukwano kirina kuba kya buli lunaku.

 ainemigisha Bainemigisha

 

Wabula ku lunaku lw’abaagalana, olina okukola ekyenjawulo n’okusinga ku by’obadde okola kisobole okuleeta ebijjukizo ebirungi ku mutima gwa munno.

Bwe muba mulina obuzibu mu mukwano gwammwe naye omwagalwa wo n’ajjukira ebirungi by’omukolera ku valentayini, kimuleetera okukkakkana ekiyamba okugumya omukwano gwammwe. “Okusanyusa munno ku Valentayini tekikwetaagisa kusaasaanya nnyo.

Munno mutonere ekirabo ekikola amakulu mu bulamu bwe. Okugeza, ssinga otulo tukubula naye n’ozuukusa munno era n’omwagaliza olunaku olusuffu ku ssaawa mukaaga ogw’ekiro, olwokuba gwe asoose okukimugamba, kizimba ekijjukizo ekirungi mu mutima gwe.

Oyinza n’okuzuukuka n’oteeka ekirabo kyo w’atuusiza amaaso n’akikeererako. Ekirala, ku Valentayini eno, keera kumakya otonere munno ekirabo kye wamutegekedde, ojja kuba omuggudde amaaso era kijja kumwewuunyisa kubanga abeera takisuubira.

Abasajja baagala nnyo okubasoomooza era ne bw’aba tabiriimu, ajja kufuba akuyiiyizeeyo ekirabo ekisinga ku kye wamuwadde.

Oyinza n’okuweereza munno obubaka obumusiima oba obumuwaana kumakya n’omugamba nga bw’ali ekyomuwendo ennyo mu bulamu bwo, n’omwebaza okubalabirira n’ebirala.

Ate Valentayini eno eri ku wiikendi, era kyandibadde kirungi n’otwalako omwagalwa wo awutu ne mucakalamu mwembi.

ABANOONYA MWEKWATE BINO Bano oluusi babeera n’abaagalwa ab’enjawulo kubanga babeera mu kugezesa naye ku lunaku lwa Valentayini, gw’osalawo okuwa olunaku luno alina okuba nga gw’oyagala okubeera naye mu maaso.

Bw’oba onoonya ng’olina okuddayo awaka, tekikugaana kugendako awutu n’ofunayo omuntu gw’ocakalamu naye.

Ate bw’oba olinayo omuntu gw’oyagala, tekikugaana kumutwalako awutu oba n’omugulirayo akalabo ne mucakalamu oluvannyuma buli omu n’addayo ewaabwe.

ABAFUMBO TEMULUSUULIRIRA Olina okubeerawo ku lwa munno kubanga okubeerawo kye kirabo ekisingayo obunene.

Oli ne bw’akuwa ekirabo ekisingayo obunene naye n’abula tekikola makulu. Ekirala, abafumbo, amasimu mugakuumireko omuliro kuba munno kimuwa obuvumu, naye ke kakutanda n’evaako ne bw’ogizzaako oluvannyuma kiba tekikyakola makulu kuba munno obeera omaze okumuteekamu ekirowoozo nti olina w’owabidde.

Era abafumbo abasuubiriza nti omwagalwa we alina omulala ebbali, bw’oba obikola, ow’ebbali ku olwo mugambe akite kuba olunaku lw’abaagalana lwa mwami wo na mukyala wo.

ABALUDDE MU BUFUMBO BINO BYAMMWE Ebiseera ebisinga bano baba n’ekizibu ky’okuba nga beemanyiira dda ekireetera omukwano okuggwa mu bufumbo bwabwe. Wabula,Valentayini eno mugikozese okuggyayo omukwano guli ogwasooka.

Muyinza okusalawo okutuulako mwembi ne mwejjukanya ebirungi bye muyiseemu naddala ebyabaleetera okwagalana.

Bwe muba ng’olunaku olwasooka mwesisinkana mu ppaaka, Mulago ku geeti, mu ttakisi, mu kkanisa, ku valentayini eno muddeeyo mutuule we mwatuulanga ng’abalamazi bwe balamaga e Namugongo.

Mwejjukanye kubanga obwongo bwaffe bwakolebwa nga bulina we butereka ebijjukizo, bivaayo ng’obikkirizza.

Muddeeyo we mwasisinkanira, we mwasookera okwenywegera oba gye mwasookera okwegatta, ekyo nakyo mukinyumirwe, kijja kuzza omukwano gwammwe buggya

Munno mukolere ekyenjawulo

 itonsa Kitonsa

 

MAURICE William Kitonsa (ku katono) agamba nti kivve okuzibya olunaku lw’abaagalana nga munno tomutonedde kirabo.

Agattako nti ekirabo tekirina kuba kya ssente nnyingi, wabula kirina okuba nga kigya mw’oyo gw’otomera. Abasajja:

Bano osobola okubatomera omusipi, engatto, essaawa, essaati, empale n’ebirala. Abasajja tebatera kwagala kubatomera bimuli. Abakyala: Bano baagala ebirabo ng’ebimuli, kalifuuwa, emikuufu n’ebirala.

Kirungi omuwe ekintu ky’ayinza okutwala n’alagako banne. Ate ekirabo ebigatta abaami n’abakyala mulimu ebifaananyi eby’okutimba , ebikopo ebitimbimbwa nga biriko ebigambo ebiwoomu, n’ebirala. Muyinza n’okutegeka olugendo lw’ababiri, muyinza okusulako mu wooteeri, okugendako mu masaagi, okuwuga n’ebirala ebibakuumira awamu.

Olina okutegeka ekintu munno ky’anaalwawo ng’anyumyako. Mu ngeri y’emu olunaku luno oyinza okulukozesa okukyusa empisa naddala nga wabaddewo obukuubagano oba nga waliwo munno kyalude ng’akusaba okyuseemu, kijja kumusanyusa. Valentayini eno osobola okugikozesa ne weetondera munno olw’ebyo ebitatam- budde bulungi

Oweewange mmutwalamu kivvulu tunyumirwe
 ekalaala Sekalaala

 

ARAFAT Sekalaala e Makindye; Ku Valentayini eno, mukyala wange ηηenda kumukolera by’ayagala byokka tusobole okulunyumirwa.

Era mmutwala mu kivvulu ewa Rema, kuba nali nkyanoonya kyennyinza okumukolera ekinaamusanyusa naye ng’agamba nti ayagala kugendako mu kivvulu kya Rema kuba muyimbi we bulijjo, ne nfuna ekyokumukolera era kw’olwo gye mutwala.

Bwe tunavaayo, tugende e Kajjansi, waliyo akafo ak’enjawulo ke nnaziga eyo mu kibira, baazimbayo obusiisira gye tugenda okusula.

Kino ndudde nga nkyetegekera kubanga njagala okuzimba ebijjukizo ebisuffu mu bulamu bwaffe. Omanyi emirimu ginfuula nnyo bbize ne nnemwa okufuna obudde okubeerako ne mukyala wange.

Era njagala akimanye nti mbeera mulowoozako nnyo wadde nga mbeera bbize nnyo. Era nsuubira kino kye kigenda okuzza obufumbo bwaffe obuggya.

Ggaayi wange ntegese okumucakaza ku bbiiru yange
 anyonjo Nanyonjo 

LINDA Nanyonjo e Muyenga mu zooni ya Kayongo; Ku lunaku lw’abaagalana ffe tetukola era omwagalwa wange ayagala nnyo wayini.

Ntegese kumugula ku Lwokuna nga February 13, mmutwale ewuwe nga ngisibyeko ekimuli ekimyufu olunaku lunsange eyo.

Ku lunaku lw’abaagalana lwennyini, nja kukeera nnyo mmufumbire ekyenkya nga kuliko amagi, amenvu, caayi n’omugaati mmuzuu- kuse anywe caayi.

Olwo ku ssaawa nnya ez’okumakya nnongoose ennyumba buli kimu nkitereeze bulungi ndyoke mutonere ekirabo kyange mu kiseera kye kimu, mmusumulule tunywemu nga bwe tuwuliriza ku buyimba obuseeneekerevu bututuuse mu ssaawa z’ekyemisana.

Ku kyemisana, ntegese kutumya mmere ku mukutu gwa jumia kuba ku olwo tulina kweyagala bweyagazi si kukola mirimu era we tunaamalira okulya ekyemisana, obudde bujja kuba butambude nga tutuuse mu ssaawa z’olweggulo.

Olweggulo nja kumutwalako awutu era ku bbiiru yange kubanga nasazeewo okumuwa essanyu kuba bulijjo y’abadde ancakaza. Era ntegese okumutwalako ku “live band”. Nkakasa we tunaddira awaka ajja kuba amatidde.

Nabaliriddemu nga byonna ηηenda kusaasaanya 150,000/- era zonna ηηenda kuziggya mu nsawo yange.

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

St14 220x290

Obululu bwa Stambic Uganda Cup...

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja

Muhabati 220x290

Abawanguzi ‘b‘Omuhabati ku kizinga’...

NG’EBULA ennaku mbale Bukedde TV okutwala abawagizi baayo ku bizinga e Kalangala, abantu bakyagenda mu maaso n’okwetaba...

Untitled5 220x290

Owa B2C baamunaaza olweza ne lunoga...

OMUYIMBI w’ekibiina kya B2C, Peterson Ssali amanyiddwa nga Boby Lash akuze. Okumanya akuze n’okukookolima akookolima....

Luke 220x290

Mmotoka y’abagole egudde mu mugga...

MMOTOKA ebaddemu abagole n’abooluganda lwabwe 7 egudde mu mugga abantu bataano okuli n’abagole ne bafiiramu