TOP
  • Home
  • Ssenga
  • Eyeefuula ky’otali ng’otandika omukwano weetegereze bino

Eyeefuula ky’otali ng’otandika omukwano weetegereze bino

By Musasi wa Bukedde

Added 11th February 2020

ABANTU abamu bwe babeera batandika omukwano batera okwagala okulaga nga bwe bali mu mbeera ennungi. Abasajja oba abalenzi bambala ne batonnya, abalala bamanyi n’okweyazika ‘entambula’ nga ntegeeza emmotoka okumatiza omuwala nti ddala alinamu

Imageeditted 703x422

Bano baanywa caayi nga basisinkanye.

ABANTU abamu bwe babeera batandika omukwano batera okwagala okulaga nga bwe bali mu mbeera ennungi. Abasajja oba abalenzi bambala ne batonnya, abalala bamanyi n’okweyazika ‘entambula’ nga ntegeeza emmotoka okumatiza omuwala nti ddala alinamu.

Bwe gutuuka ku nsisinkano esooka bamanyi okugenda mu bifo eby’ebbeeyi olwo omuwala n’akkiriza nga bw’ateebye omulenzi.

Omuwala bw’aba asabye omulenzi okumutwalako gy’asula, abamu batera okubatwala mu mikwano gyabwe awalabika obulungi nga bino byonna bikolebwa okuwangula omutima gw’omuwala.

N’abawala nabo balinamu embeera eno ey’okulaga nga bwe balina ‘class’ oba soma ‘kiraasi’ bwe bakwata essimu ez’ebbeeyi, okweyazika ku bannaabwe engatto n’engoye ebirabika obulungi.

Enviiri batera okwevaamu ne bakola ezibalabisa obulungi okulaga omusajja oba omulenzi nti omuntu gw’akwana si wa layisi era bw’aba amuwa, waleti erina okubeera enzito.

EBIZIBU EBIBEERAWO Okweteeka mu mbeera eno naye ddala nga si bwoli kisudde bangi mu bizibu eby’enjawulo naddala nga munne ategeeredde ddala ekituufu kyali.

Abawala bacamuka nnyo nga bafunye omuntu alabika obulungi era ng’alaze nti alina ne ku ssente.

Omusajja oba omulenzi ow’engeri eno banguwa okumunyumya mu mikwano gyabwe, abazadde naddala maama n’abooluganda lwe.

Ekizibu we kijjira ng’omulenzi tasobola kusigala mu mbeera gye yasooka okulanga nti alina ku ssente. Ekiddirira kubeera kutandika kwebuzaabuza na kwekweka olw’ensonyi oba okutya okuswala.

Olwo omuwala obuzibu bw’abeera afunye kwe kutya okutwala omulenzi mu mikwano oba abooluganda olw’okuzuula nti ddala baamufera. Olwo bwe bamubuuza ku ‘guy’ adda mu kwesooza oba okulaga bwe yamuzuulamu ‘ebituli’.

Ebintu by’okweyazika n’okweteeka mu kiraasi ekiseera kituuka nga tebikyasoboka era omulenzi bw’atapalappalanya ng’atya omuwala okumuzuula nti ddala yeefuula ky’atali, abalala beekwekera ddala n’essimu ne bataddayo kuzikwata.

Edith Mukisa, abuulirira abafumbo oba abali mu mukwano n’okubawabula agamba nti kibi abantu okutandika omukwano ne beefuula kye batali.

Agamba nti ekiva mu kino kubeera kulimba na kumenya mutima gwa munno ng’azudde nti kye walaga si kyoli.

Mukisa yasoose kulabula abawala ku basajja abalaga ssente nga banoonya okubawangula emitima n’agamba nti bw’oyanguwa okumwewa oyinza okwekanga ng’akukozesezza n’akusuulawo mangu ng’alaba nti ky’abadde aluubirira akifunye.

Okwewanika mu kiraasi gy’otoliimu oluusi kikuleetera obutabeera mwesimbu, obukumpanya n’obubbi.

Mukisa angamba buli lw’ogezaako okwewanika mu mbeera gy’otosobola kwetuusaako oba kunywererako weesanga ogenze mu kwewola, okukozesa ssente n’ebintu ebitali bibyo oluusi n’obubbi ng’oluubirira okusanyusa munno gwe wasooka okugala nti oli wa maanyi ng’omukwana.

Agamba nti embeera eno teyinza kubeera ya lubeerera kuba ekiseera kituuka n’otendewalira era eyali asuubira ebingi bw’atakusuulawo mwesanga ng’omukwano mugutambuliza ku bugubi olwa munno okunyiiga oba okuterebuka.

Agamba nti kirungi omuwala oba omulenzi okumulaga ekifaananyi kyo ekituufu n’asalawo okukwagala nga tasuubira bingi ng’obugulu bw’eggongolo.

Kino kiyamba okufuna entandikwa ennungi era bangi bakoze ne bakulaakulana oluvannyuma ne beesanga ng’obufumbo bunyuma.

ABANTU abamu bwe babeera batandika omukwano batera okwagala okulaga nga bwe bali mu mbeera ennungi. Abasajja oba abalenzi bambala ne batonnya, abalala bamanyi n’okweyazika ‘entambula’ nga ntegeeza emmotoka okumatiza omuwala nti ddala alinamu. Bwe gutuuka ku nsisinkano esooka bamanyi okugenda mu bifo eby’ebbeeyi olwo omuwala n’akkiriza nga bw’ateebye omulenzi. Omuwala bw’aba asabye omulenzi okumutwalako gy’asula, abamu batera okubatwala mu mikwano gyabwe awalabika obulungi nga bino byonna bikolebwa okuwangula omutima gw’omuwala. N’abawala nabo balinamu embeera eno ey’okulaga nga bwe balina ‘class’ oba soma ‘kiraasi’ bwe bakwata essimu ez’ebbeeyi, okweyazika ku bannaabwe engatto n’engoye ebirabika obulungi. Enviiri batera okwevaamu ne bakola ezibalabisa obulungi okulaga omusajja oba omulenzi nti omuntu gw’akwana si wa layisi era bw’aba amuwa, waleti erina okubeera enzito. EBIZIBU EBIBEERAWO Okweteeka mu mbeera eno naye ddala nga si bwoli kisudde bangi mu bizibu eby’enjawulo naddala nga munne ategeeredde ddala ekituufu kyali. Abawala bacamuka nnyo nga bafunye omuntu alabika obulungi era ng’alaze nti alina ne ku ssente. Omusajja oba omulenzi ow’engeri eno banguwa okumunyumya mu mikwano gyabwe, abazadde naddala maama n’abooluganda lwe. Ekizibu we kijjira ng’omulenzi tasobola kusigala mu mbeera gye yasooka okulanga nti alina ku ssente. Ekiddirira kubeera kutandika kwebuzaabuza na kwekweka olw’ensonyi oba okutya okuswala. Olwo omuwala obuzibu bw’abeera afunye kwe kutya okutwala omulenzi mu mikwano oba abooluganda olw’okuzuula nti ddala baamufera. Olwo bwe bamubuuza ku ‘guy’ adda mu kwesooza oba okulaga bwe yamuzuulamu ‘ebituli’. Ebintu by’okweyazika n’okweteeka mu kiraasi ekiseera kituuka nga tebikyasoboka era omulenzi bw’atapalappalanya ng’atya omuwala okumuzuula nti ddala yeefuula ky’atali, abalala beekwekera ddala n’essimu ne bataddayo kuzikwata. Edith Mukisa, abuulirira abafumbo oba abali mu mukwano n’okubawabula agamba nti kibi abantu okutandika omukwano ne beefuula kye batali. Agamba nti ekiva mu kino kubeera kulimba na kumenya mutima gwa munno ng’azudde nti kye walaga si kyoli. Mukisa yasoose kulabula abawala ku basajja abalaga ssente nga banoonya okubawangula emitima n’agamba nti bw’oyanguwa okumwewa oyinza okwekanga ng’akukozesezza n’akusuulawo mangu ng’alaba nti ky’abadde aluubirira akifunye. Okwewanika mu kiraasi gy’otoliimu oluusi kikuleetera obutabeera mwesimbu, obukumpanya n’obubbi. Mukisa angamba buli lw’ogezaako okwewanika mu mbeera gy’otosobola kwetuusaako oba kunywererako weesanga ogenze mu kwewola, okukozesa ssente n’ebintu ebitali bibyo oluusi n’obubbi ng’oluubirira okusanyusa munno gwe wasooka okugala nti oli wa maanyi ng’omukwana. Agamba nti embeera eno teyinza kubeera ya lubeerera kuba ekiseera kituuka n’otendewalira era eyali asuubira ebingi bw’atakusuulawo mwesanga ng’omukwano mugutambuliza ku bugubi olwa munno okunyiiga oba okuterebuka. Agamba nti kirungi omuwala oba omulenzi okumulaga ekifaananyi kyo ekituufu n’asalawo okukwagala nga tasuubira bingi ng’obugulu bw’eggongolo. Kino kiyamba okufuna entandikwa ennungi era bangi bakoze ne bakulaakulana oluvannyuma ne beesanga ng’obufumbo bunyuma.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

St14 220x290

Obululu bwa Stambic Uganda Cup...

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja

Muhabati 220x290

Abawanguzi ‘b‘Omuhabati ku kizinga’...

NG’EBULA ennaku mbale Bukedde TV okutwala abawagizi baayo ku bizinga e Kalangala, abantu bakyagenda mu maaso n’okwetaba...

Untitled5 220x290

Owa B2C baamunaaza olweza ne lunoga...

OMUYIMBI w’ekibiina kya B2C, Peterson Ssali amanyiddwa nga Boby Lash akuze. Okumanya akuze n’okukookolima akookolima....

Luke 220x290

Mmotoka y’abagole egudde mu mugga...

MMOTOKA ebaddemu abagole n’abooluganda lwabwe 7 egudde mu mugga abantu bataano okuli n’abagole ne bafiiramu